1
Kale, nga bwe tulina okuweereza kuno, olw'okusaasira kwa Katonda, tetuddirira.
2
Naye twagaana eby'ensonyi ebikisibwa, nga tetutambulira mu bukuusa, so tetukyamya kigambo kya Katonda; naye olw'okulabisa amazima tuleka buli muntu atulowoozeeko ng'Omwoyo gwe bwe guli mu maaso ga Katonda.
3
Era newakubadde ng'enjiri yaffe ebikkibwako, ebikkibwako eri abo ababula.
4
Be bo abatakkiriza, Setaani omufuzi ow'emirembe gino be yaziba emitima gyabwe, n'abaziyiza okulaba omusana gw'Enjiri ey'ekitiibwa eya Kristo, oyo kye kifaananyi kya Katonda.
5
Kubanga tetwebuulira fekka, wabula Kristo Yesu nga ye Mukama waffe, naffe nga tuli baddu bammwe ku lwa Yesu.
6
Kubanga Katonda ye yayogera nti, “Leka omusana gwake mu kizikiza,” eyayaka mu mitima gyaffe, okuleeta omusana ogw'okutegeera ekitiibwa kya Katonda mu maaso ga Yesu Kristo.
7
Naye obugagga obwo tuli nabwo mu bibya eby'ebbumba, amaanyi amangi ennyo galyoke gavenga eri Katonda, so si eri ffe.
8
Tubonyaabonyezebwa mu buli ngeri, naye tetumalibwawo; tusoberwa, naye tetuggwaamu ssuubi.
9
Tuyigganyizibwa, naye tetulekebwa; tumeggebwa, naye tetuzikirira.
10
Bulijjo tutambula nga tulina mu mubiri okuttibwa kwa Yesu, era n'obulamu bwa Yesu bulyoke bulabisibwenga mu mubiri gwaffe.
11
Kubanga ffe abalamu tuweebwayo ennaku zonna eri okufa okutulanga Yesu, era n'obulamu bwa Yesu bulyoke bulabisibwenga mu mubiri gwaffe ogufa.
12
Bwe kityo okufa kukolera mu ffe, naye obulamu mu mmwe.
13
Naye nga tulina omwoyo guli ogw'okukkiriza, nga bwe kyawandiikibwa nti, “Nakkiriza, kyennava njogera,” Era naffe tukkiriza, era kyetuva twogera.
14
Nga tumanyi ng'oyo eyazuukiza Mukama waffe Yesu, era naffe alituzuukiza wamu ne Yesu, era alitwanjulira wamu nammwe.
15
Kubanga byonna biri ku bwammwe, ekisa ekyo nga bwe kyeyongera okubuna mu bantu abangi, kyongera okuleeta okwebaza Katonda n'okumuweesa ekitiibwa.
16
Kyetuva tulema okuddirira; naye newakubadde omuntu waffe ow'okungulu ng'aggwaawo, naye omuntu waffe ow'omunda afuuka omuggya bulijjo bulijjo.
17
Kubanga okubonaabona kwaffe okutazitowa, okw'ekiseera ekya kaakano, kwongerayongera nnyo okutukolera ekitiibwa ekizitowa eky'emirembe n'emirembe.
18
Ffe nga tetutunuulira ebirabika, wabula ebitalabika, kubanga ebirabika bya kiseera; naye ebitalabika bya mirembe na mirembe.
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.