|
| 1 |
|
| Naye njogera nti omusika ng'akyali muto tayawulwa na muddu n'akatono, newakubadde nga ye mukama wa byonna; |
|
| 2 |
|
| naye afugibwa abasigire n'abawanika okutuusa entuuko kitaawe ze yalagira edda. |
|
| 3 |
|
| Bwe tutyo naffe, bwe twabanga abato, twabanga baddu nga tufugibwa eby'olubereberye eby'omu nsi: |
|
| 4 |
|
| naye okutuukirira kw'ebiro bwe kwatuuka, Katonda n'atuma Omwana we eyazaalibwa omukazi, eyazaalibwa ng'afugibwa amateeka, |
|
| 5 |
|
| alyoke abanunule abaafugibwa amateeka, tulyoke tuweebwe okufuuka abaana. |
|
| 6 |
|
| Era kubanga muli baana, Katonda yatuma Omwoyo gw'Omwana we mu mitima gyaffe; ng'akaaba nti Aba, Kitaffe. |
|
| 7 |
|
| Bwe kityo naawe tokyali muddu, naye mwana; oba ng'oli mwana, era oli musika ku bwa Katonda. |
|
| 8 |
|
| Naye mu nnaku ziri bwe mutaamanyanga Katonda, mwabanga baddu ba bali abatali bakatonda mu buwangwa: |
|
| 9 |
|
| naye kaakano bwe mutegedde Katonda, oba ekisinga bwe mutegeddwa Katonda, mukyuka mutya ennyuma mu bigambo eby'olubereberye ebitalina maanyi ebinafu, ate bye mwagala okufugibwa omulundi ogw'okubiri? |
|
| 10 |
|
| Mukwata ennaku n'emyezi n'ebiro n'emyaka. |
|
| 11 |
|
| Mbakeŋŋentererwa okutegana kwange gye muli okuba okw'obwereere. |
|
| 12 |
|
| Mubeere nga nze, kubanga nange ndi nga mmwe, ab'oluganda mbeegayiridde. Temunnyonoonanga: |
|
| 13 |
|
| naye mumanyi ng'olw'obunafu bw'omubiri nnababuulira enjiri omulundi ogw'olubereberye: |
|
| 14 |
|
| era okukemebwa kwammwe okw'omu mubiri gwange temwakunyooma so temwakulondoola, naye mwanzikiriza nga malayika owa Katonda, nga Kristo Yesu. |
|
| 15 |
|
| Kale okwetenda kwammwe kuli luuyi wa? kubanga ndi mujulirwa wammwe nti, singa kyali kiyinzika, mwandiggyeemu amaaso gammwe ne mugawa nze. |
|
| 16 |
|
| Kale nfuuse mulabe wammwe nga mbabuulira amazima? |
|
| 17 |
|
| Beegonza gye muli naye si bulungi; naye kye baagala kwe kubaggalira ebweru, mmwe mulyoke mwegonzenga gye bali: |
|
| 18 |
|
| Naye kirungi abantu okwegonzanga mu bulungi ennaku zonna, naye si nze lwe mbeera nammwe lwokka. |
|
| 19 |
|
| Abaana bange abato, abannuma nate okutuusa Kristo lw'alibumbibwa mu mmwe, |
|
| 20 |
|
| era nnandyagadde okubeera nammwe kaakano, n'okuwaanyisa eddoboozi lyange, kubanga mbuusabuusa olw'ebigambo byammwe. |
|
| 21 |
|
| Mumbuulire mmwe abaagala okufugibwa amateeka, temuwulira mateeka? |
|
| 22 |
|
| Kubanga kyawandiikibwa nti Ibulayimu yalina abaana babiri, omu wa muzaana, omu wa wa ddembe. |
|
| 23 |
|
| Naye ow'omuzaana yazaalibwa lwa mubiri; naye ow'ow'eddembe lwa kusuubiza. |
|
| 24 |
|
| Ebyo bya lugero: kubanga abakazi abo ze ndagaano bbiri; emu eva ku lusozi Sinaayi, ezaala olw'obuddu, eyo ye Agali. |
|
| 25 |
|
| Agali oyo lwe lusozi Sinaayi, oluli mu Buwalabu, era yenkanankana ne Yerusaalemi ekya kaakano: kubanga muddu wamu n'abaana be. |
|
| 26 |
|
| Naye Yerusaalemi eky'omu ggulu kye ky'eddembe, ye nnyaffe. |
|
| 27 |
|
| Kubanga kyawandiikibwa nti Sanyuka, omugumba atazaala; Baguka okwogerera waggulu, atalumwa: Kubanga abaana b'oyo eyalekebwayo bangi okusinga ab'oyo alina omusajja: |
|
| 28 |
|
| Naye ffe, ab'oluganda, tuli baana ba kusuubiza nga Isaaka bwe yali. |
|
| 29 |
|
| Naye nga mu biro biri eyazaalibwa olw'omubiri nga bwe yayigganya eyazaalibwa olw'Omwoyo, bwe kityo ne kaakano. |
|
| 30 |
|
| Naye ebyawandiikibwa byogera bitya? nti Goba omuzaana n'omwana we: kubanga omwana w’omuzaana talisikira wamu n'omwana w'ow'eddembe. |
|
| 31 |
|
| Kale, ab'oluganda, ffe tetuli ba muzaana, naye ba wa ddembe. |
|
|
|
|