|
| 1 |
|
| Ntegeeza kino nti omusika ng'akyali muto tayawulwa na muddu n'akatono, newakubadde nga ye mukama wa byonna; |
|
| 2 |
|
| naye afugibwa abakuza n'abasigire okutuusa ekiseera kitaawe kye yalagira nga kituuse. |
|
| 3 |
|
| Bwe tutyo naffe, bwe twali tukyali bato, twali baddu nga tufugibwa emyoyo egy'omu nsi. |
|
| 4 |
|
| Naye ekiseera kye nnyini bwe kyatuuka, Katonda n'atuma Omwana we eyazaalibwa omukazi, eyazaalibwa ng'afugibwa amateeka, |
|
| 5 |
|
| alyoke abanunule abafugibwa amateeka, tulyoke tuweebwe okufuuka abaana. |
|
| 6 |
|
| Era kubanga muli baana, Katonda yatuma Omwoyo gw'Omwana we mu mitima gyaffe, ng'akaaba nti “Aba, Kitaffe.” |
|
| 7 |
|
| Bwe kityo naawe tokyali muddu, naye mwana; oba ng'oli mwana, era oli musika ku bwa Katonda. |
|
| 8 |
|
| Naye mu nnaku ziri bwe mwali temunnamanya Katonda, mwabanga baddu ba bitonde ebitali bakatonda. |
|
| 9 |
|
| Naye kaakano bwe mutegedde Katonda, oba ekisinga bwe mutegeddwa Katonda, mukyuka mutya okudda emabega okugoberera emyoyo eminafu egisabiriza, ate era mweteeke mu buddu bwagyo? |
|
| 10 |
|
| Mukwata ennaku n'emyezi n'ebiro n'emyaka. |
|
| 11 |
|
| Ntidde si kulwa nga okutegana kwange gye muli okuba okw'obwereere. |
|
| 12 |
|
| Mbeegayirira ab'oluganda, mubeere nga nze, kubanga nange ndi nga mmwe, temunsobyangako; |
|
| 13 |
|
| naye mumanyi ng'olw'obunafu bw'omubiri nnababuulira Enjiri omulundi ogwolubereberye; |
|
| 14 |
|
| naye newakubadde nga nnabazitowerera olw'obulwadde bwange, temwannyooma oba okunsekerera, naye mwanzikiriza nga malayika wa Katonda, nga Kristo Yesu. |
|
| 15 |
|
| Kale okumatira okwo kwe mwafuna kwadda wa? Kubanga ndi mujulirwa wammwe nti, singa kyali kyetaagisa, mwandiggyeemu amaaso gammwe ne mugawa nze. |
|
| 16 |
|
| Kale nfuuse mulabe wammwe nga mbabuulira amazima? |
|
| 17 |
|
| Abo babakozesa bukozesa, naye si lwa bulungi; kye baagala kwe kubaggalira ebweru, mmwe mulyoke mwegonzenga gyebali. |
|
| 18 |
|
| Naye kirungi abantu okwegonzanga mu bulungi ennaku zonna, naye si nze lwe mbeera nammwe lwokka. |
|
| 19 |
|
| Abaana bange abato, munnyongedde okubeera mu bulumi obungi, okutuusa Kristo lw'alibumbibwa mu mmwe, |
|
| 20 |
|
| era nnandyagadde okubeera nammwe kaakano, n'okukyusa eddoboozi lyange, kubanga mberalikiridde nnyo. |
|
| 21 |
|
| Mmumbuulire mmwe abaagala okufugibwa amateeka, temuwulira mateeka? |
|
| 22 |
|
| Kubanga kyawandiikibwa nti Ibulayimu yalina abaana babiri, omu wa muzaana, omulala wa wa ddembe. |
|
| 23 |
|
| Ow'omuzaana yazaalibwa lwa mubiri; naye ow'ow'eddembe lwa kusuubiza. |
|
| 24 |
|
| Ebyo bya lugero: kubanga abakazi abo ze ndagaano bbiri; emu eva ku lusozi Sinaayi, ye yazaala abaana ab'obuddu, eyo ye Agali. |
|
| 25 |
|
| Agali oyo lwe lusozi Sinaayi, oluli mu Buwalabu, era yenkanankana ne Yerusaalemi ekya kaakano: kubanga muddu wamu n'abaana be. |
|
| 26 |
|
| Naye Yerusaalemi eky'omu ggulu kye ky'eddembe, ye nnyaffe. |
|
| 27 |
|
| Kubanga kyawandiikibwa nti, “Sanyuka, omugumba atazaala; Yanguwa oyogerere waggulu, ggwe atali mu bulumi bwa kuzaala, Kubanga abaana b'oyo eyalekebwayo bangi okusinga ab'oyo alina omusajja.” |
|
| 28 |
|
| Naye ffe, ab'oluganda, tuli baana ba kisuubizo nga Isaaka bwe yali. |
|
| 29 |
|
| Naye nga mu biro biri eyazaalibwa olw'omubiri nga bwe yayigganya eyazaalibwa olw'Omwoyo, bwe kityo bwe kiri ne kaakano. |
|
| 30 |
|
| Naye ebyawandiikibwa byogera bitya? nti, “Goba omuzaana n'omwana we: kubanga omwana w'omuzaana talisikira wamu n'omwana w'ow'eddembe.” |
|
| 31 |
|
| Kale, ab'oluganda, ffe tetuli ba muzaana, naye tuli baana ab'omukazi ow'eddembe. |
|
|
|
|