|
| 1 |
|
| Kale nga Kristo bwe yatufuula ab’eddembe, bwe mutyo munywerere mu ddembe eryo muleme kusibwa nate mu kikoligo ky’obuddu. |
|
| 2 |
|
| Ka mbategeeze nze Pawulo: Bwe mukomolebwa, nga Kristo taliiko ky’abagasa. |
|
| 3 |
|
| Era nziramu okutegeeza buli muntu akomolebwa nti alina ebbanja okutuukiriza amateeka gonna. |
|
| 4 |
|
| Mwava mu Kristo mmwe abanoonya okufuna obutuukirivu olw’amateeka. Mwava mu kisa. |
|
| 5 |
|
| Kubanga ffe, ffe ku bw’Omwoyo olw’okukkiriza tulindirira n’essuubi obutuukirivu. |
|
| 6 |
|
| Kubanga mu Kristo Yesu, okukomolebwa oba obutakomolebwa, tekulina maanyi, wabula okukkiriza kukola olw’okwagala. |
|
| 7 |
|
| Mwali mutambula bulungi. Ani eyabasendasenda n’abaggya ku kugondera amazima? |
|
| 8 |
|
| Okusendebwasendebwa okwo, si kw’oyo eyabayita. |
|
| 9 |
|
| Ekizimbulukusa ekitono kizimbulukusa ekitole kyonna. |
|
| 10 |
|
| Mbeesiga mu Mukama waffe nga temujja kulowooza kintu kirala kyonna. Naye oyo abateganya alisalirwa omusango ne bw’aliba ani. |
|
| 11 |
|
| Naye nze abooluganda, oba nga nkyayigiriza okukomolebwa, lwaki njigganyizibwa? Kale enkonge ey’omusaalaba evuddewo. |
|
| 12 |
|
| Nnandyagadde abo abaabateganya beeraawe. |
|
| 13 |
|
| Kubanga mmwe abooluganda mwayitibwa lwa ddembe, noolwekyo eddembe teribawa bbeetu kugoberera bya mubiri. Naye olw’okwagala buli omu abeerenga muweereza wa munne. |
|
| 14 |
|
| Kubanga amateeka gonna gatuukirizibwa mu tteeka lino nti: “Yagalanga muntu munno nga bwe weeyagala wekka.” |
|
| 15 |
|
| Naye obanga muneneŋŋana mwegendereze muleme okwezikiriza. |
|
| 16 |
|
| Mbagamba nti, mutambulirenga mu Mwoyo, mu ngeri yonna, mulemenga kutuukiriza kwegomba kwa mubiri. |
|
| 17 |
|
| Kubanga okwegomba kw’omubiri kulwanagana n’Omwoyo, n’Omwoyo n’alwanagana n’omubiri; kubanga bino byombi bikontana, mulemenga okukola bye mwagala. |
|
| 18 |
|
| Naye bwe muluŋŋamizibwa Omwoyo, olwo nga temukyafugibwa mateeka. |
|
| 19 |
|
| Ebikolwa by’omubiri bya lwatu, bye bino: obwenzi, obukaba, obugwenyufu, |
|
| 20 |
|
| Okusinza bakatonda abalala, obufumu, obulabe, okuyomba, obuggya, obusungu, okwekuluntaza, okweyawula, okwesalamu, |
|
| 21 |
|
| ettima, obutamiivu, ebinyumu, n’ebirala ebiri ng’ebyo. Ka mbategeeze nate nga bwe nasooka okubabuulira nti buli akola ebyo talina mugabo mu bwakabaka bwa Katonda. |
|
| 22 |
|
| Naye ebibala eby’Omwoyo bye bino: okwagala, essanyu, emirembe, obugumiikiriza, ekisa, obulungi, obwesigwa, |
|
| 23 |
|
| obuwombeefu, okwefuga; awali ebyo tewali tteeka libiwakanya. |
|
| 24 |
|
| N’abo aba Kristo Yesu baakomerera omubiri n’okwegomba kwagwo, n’omululu gwagwo. |
|
| 25 |
|
| Kale bwe tuba abalamu ku bw’Omwoyo, tugobererenga okuluŋŋamizibwa kw’Omwoyo. |
|
| 26 |
|
| Tulemenga okwemanya, n’okunyizaganya, n’okukwatiragananga obuggya. |
|
|
|
|