|
| 1 |
|
| Mu ddembe Kristo yatufuula ba ddembe: kale munywere, mulemenga okusibibwa nate mu kikoligo ky'obuddu. |
|
| 2 |
|
| Kaakano, nze Pawulo, kambategeeze nti, bwe munaakomolebwa, nga Kristo taliiko ky'abagasa. |
|
| 3 |
|
| Era nate ntegeeza buli muntu akomolebwa nti alina ebbanja ery'okukolanga eby'amateeka byonna. |
|
| 4 |
|
| Mwawuliddwa ku Kristo, mmwe abaagala okuweebwa obutuukirivu mu mateeka; mugudde okuva mu kisa. |
|
| 5 |
|
| Kubanga nga tuyita mu Mwoyo, olw'okukkiriza, tulindirira essuubi ery'obutuukirivu. |
|
| 6 |
|
| Kubanga mu Kristo Yesu okukomolebwa newakubadde obutakomolebwa, tekulina maanyi, wabula okukkiriza okukola olw'okwagala. |
|
| 7 |
|
| Mwali mutambula bulungi; ani eyabaziyiza okugonderanga amazima? |
|
| 8 |
|
| Okusendebwasendebwa okwo tekwava eri oyo abayita. |
|
| 9 |
|
| Ekizimbulukusa ekitono kizimbulukusa ekitole kyonna. |
|
| 10 |
|
| Mbeesiga mmwe mu Mukama waffe, nti temulirowooza kigambo kirala: naye oyo abateganya alibaako omusango gwe, ne bw'aliba ani. |
|
| 11 |
|
| Naye nze, ab'oluganda, oba nga nkyayigiriza okukomolebwa, kiki ekikyanjigganyisa? Kale enkonge ey'omusalaba ng'evuddewo. |
|
| 12 |
|
| Nnandyagadde abo abababuguutanya beeraawe! |
|
| 13 |
|
| Kubanga mmwe, ab'oluganda, mwayitibwa lwa ddembe; naye temukozesa ddembe lyammwe, kukola omubiri bye gwagala, naye olw'okwagala muweerezaganenga mwekka na mwekka. |
|
| 14 |
|
| Kubanga amateeka gonna gatuukirira mu kigambo kimu, mu kino nti, “Oyagalanga muntu munno nga bwe weeyagala wekka.” |
|
| 15 |
|
| Naye bwe mulumagana, bwe mulyaŋŋana, mwegenderezenga mulemenga okwemalawo mwekka na mwekka. |
|
| 16 |
|
| Naye njogera nti mutambulirenga mu Mwoyo, era temuutuukirizanga kwegomba kwa mubiri. |
|
| 17 |
|
| Kubanga okwegomba kw'omubiri kulwanagana n'Omwoyo, n'Omwoyo gulwanagana n'omubiri; kubanga ebyo byombiriri bikontana, mulemenga okukola ebyo bye mwagala. |
|
| 18 |
|
| Naye bwe muluŋŋamizibwa Omwoyo, nga temufugibwa mateeka. |
|
| 19 |
|
| Naye ebikolwa by'omubiri bya lwatu, bye bino, obwenzi, obugwenyufu, obukaba, |
|
| 20 |
|
| okusinza ebitali Katonda, obulaguzi, obulabe, okuyomba, obuggya, obusungu, empaka, okweyawula, okwesalamu, |
|
| 21 |
|
| ettima, obutamiivu, ebinyumu, n'ebiri ng'ebyo: mbalabula nga bwenasooka okubalabula nti abo abakola ebyo tebalisikira bwakabaka bwa Katonda. |
|
| 22 |
|
| Naye ebibala by'Omwoyo kwe kwagala, okusanyuka, emirembe, okugumiikiriza, ekisa, obulungi, okukkiriza, |
|
| 23 |
|
| obuwombeefu, okwegendereza: ku biri ng'ebyo tewali mateeka. |
|
| 24 |
|
| N'abo aba Kristo Yesu baakomerera omubiri wamu n'omululu gwagwo n'okwegomba kwagwo. |
|
| 25 |
|
| Bwe tuba abalamu ku bw'Omwoyo, era tutambulenga ku bw'Omwoyo. |
|
| 26 |
|
| Tuleme okwenyumiririzanga obwereere, nga twesunguwaza fekka na fekka, nga tetukwatibwa buggya fekka na fekka. |
|
|
|
|