|
| 1 |
|
| Ab'oluganda, omuntu bw'alabibwanga ng'ayonoonye; mmwe ab'omwoyo mumulongoosenga ali bw'atyo mu mwoyo gw'obuwombeefu; nga weekuuma wekka naawe olemenga okukemebwa. |
|
| 2 |
|
| Mubeeraganenga emigugu mwekka na mwekka, mutuukirizenga bwe mutyo etteeka lya Kristo. |
|
| 3 |
|
| Kubanga omuntu bwe yeerowoozanga okuba ekintu, nga si kintu, nga yeerimbalimba. |
|
| 4 |
|
| Naye buli muntu akemenga omulimu gwe ku bubwe; alyoke abeere n'okwenyumiriza ku bubwe yekka so si ku bwa mulala. |
|
| 5 |
|
| Kubanga buli muntu alyetikka omutwalo gwe ye. |
|
| 6 |
|
| Naye ayigirizibwanga ekigambo assenga ekimu n'oyo ayigiriza mu birungi byonna. |
|
| 7 |
|
| Temulimbibwanga; Katonda tasekererwa: kubanga omuntu kyonna ky'asiga era ky'alikungula. |
|
| 8 |
|
| Kubanga asigira omubiri gwe ye, alikungula mu mubiri okuvunda; naye asigira Omwoyo, alikungula mu Mwoyo obulamu obutaggwaawo. |
|
| 9 |
|
| Tuleme okuddiriranga mu kukola obulungi: kubanga ebiro bwe birituuka, tulikungula; nga tetuzirise. |
|
| 10 |
|
| Kale, bwe tunaalabanga ebbanga, tubakolenga obulungi bonna, naye okusinga abo abali mu nnyumba ey'okukkiriza. |
|
| 11 |
|
| Mulabe bwe mbawandiikidde mu nnukuta ennene n'omukono gwange nze. |
|
| 12 |
|
| Bonna abaagala okwewoomereza mu mubiri be babawaliriza okukomolebwanga; kyokka balemenga okuyigganyizibwa olw'omusalaba gwa Kristo. |
|
| 13 |
|
| Kubanga era n'abo bennyini abakomolebwa amateeka tebagakwata; naye baagala mmwe okukomolebwanga, balyoke beenyumiririzenga ku mubiri gwammwe. |
|
| 14 |
|
| Naye nze ssaagala kwenyumirizanga, wabula ku musalaba gwa Mukama waffe Yesu Kristo; olw'ogwo ensi ekomereddwa gye ndi, nange eri ensi. |
|
| 15 |
|
| Kubanga okukomolebwa si kintu, newakubadde obutakomolebwa, wabula ekitonde ekiggya. |
|
| 16 |
|
| N'abo bonna abanaatambuliranga mu tteeka eryo, emirembe gibenga ku bo, n'okusaasirwa, ne ku Isiraeri wa Katonda. |
|
| 17 |
|
| Okutanula kaakano, omuntu yenna aleme okunteganyanga: kubanga ntwala enkovu za Yesu zisaliddwa ku mubiri gwange. |
|
| 18 |
|
| Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga wamu n'omwoyo gwammwe, ab'oluganda. Amiina. |
|
|
|
|