|
| 1 |
|
| Abooluganda, bwe wabangawo agudde mu kibi, mmwe abafugibwa omwoyo, muyambenga omuntu oyo nga muli bakkakkamu. Mwekuumenga, sikulwa nga nammwe mugwa mu kukemebwa. |
|
| 2 |
|
| Mugumiikirizaganenga, kubanga bwe mukola bwe mutyo, muba mutuukirizza etteeka lya Kristo. |
|
| 3 |
|
| Omuntu bwe yeerowooza ng'aliko bw'ali, sso nga taliiko bw'ali, aba yeerimbalimba. |
|
| 4 |
|
| Kyokka buli omu akeberenga ebikolwa bye, alyoke alabe oba nga mu ye mulimu ekimwenyumirizisa, nga teyeegeraageranya na mulala, |
|
| 5 |
|
| kubanga buli omu alyetikka mugugu gwe. |
|
| 6 |
|
| Oyo ayigirizibwa ekigambo kya Katonda, atoole ku bibye by'alina, aweeko amuyigiriza. |
|
| 7 |
|
| Temulimbibwanga, Katonda tabuzaabuzibwa: omuntu ky'asiga era ky'alikungula. |
|
| 8 |
|
| Asiga mu mubiri gwe, mu mubiri mw'alikungula okufa. Kyokka oyo asiga mu Mwoyo, mu Myoyo mw'alikungula obulamu obutaggwaawo. |
|
| 9 |
|
| Kale tuleme okukoowa mu kukolanga obulungi, kubanga bwe tutaddirira, ekiseera kirituuka ne tukungula. |
|
| 10 |
|
| Kale nga bwe tulina ebbanga, tukolerenga abantu bonna ebirungi, naddala abo bwe tuli awamu mu kukkiriza. |
|
| 11 |
|
| Mulabe bwe mbawandiikidde n'omukono gwange mu nnukuta ennene. |
|
| 12 |
|
| Abo abaagala okwenyumiririza mu byokungulu, be baagala okubawaliriza okukomolebwa. Bakikola balyoke baleme kuyigganyizibwa olw'omusaalaba gwa Kristo. |
|
| 13 |
|
| N'abo abakomolebwa, tebagoberera ebyo Amateeka bye galagira, wabula baagala mukomolebwe, bo balyoke beenyumirize olw'okukomolebwa kwammwe. |
|
| 14 |
|
| Nze sigenda kwenyumiriza n'akatono, okuggyako okwenyumiririza mu musaalaba gwa Kristo. Olw'omusaalaba ogwo, ensi ngiraba ng'ekomereddwa, nayo endaba ng'omukomerere. |
|
| 15 |
|
| Oba ng'omuntu akomolebwa oba takomolebwa, ekyo si nsonga, wabula ekyetaagibwa kwe kufuuka ekitonde ekiggya. |
|
| 16 |
|
| Emirembe n'okusaasira bibeerenga ku bantu ba Katonda, abo bonna abagoberera ekiragiro kino. |
|
| 17 |
|
| Okuva kaakano tewabanga muntu n'omu anteganya, kubanga enkovu ze nnina ku mubiri gwange za Yesu, |
|
| 18 |
|
| Mukama waffe Yesu Kristo abakwatirwenga ekisa mmwe, abooluganda. Amiina. |
|
|
|
|