|
| 1 |
|
| Kale nze Pawulo, omusibe wa Yesu Kristo ku lwammwe ab'amawanga, - |
|
| 2 |
|
| oba mwawulira obuwanika obw'ekisa kya Katonda kye nnaweebwa eri mmwe; |
|
| 3 |
|
| bwe nnategeezebwa ekyama mu kubikkulirwa, nga bwe nnawandiika edda mu bigambo ebitono, |
|
| 4 |
|
| ebiyinza okubategeeza, bwe mubisoma, okumanya kwange mu kyama kya Kristo; |
|
| 5 |
|
| ekitaategeezebwa mu mirembe egy'edda abaana b'abantu, nga kaakano bwe kibikkuliddwa abatume be abatukuvu ne bannabbi mu Mwoyo; |
|
| 6 |
|
| ab'amawanga okubeera abasikira awamu, era ab'omubiri ogumu, era abassa ekimu ekyasuubizibwa mu Kristo Yesu olw'enjiri, |
|
| 7 |
|
| gye nnafuukira omuweereza waayo, ng'ekirabo eky'ekisa kya Katonda bwe kiri kye nnaweebwa ng'okukola kw'amaanyi ge bwe kuli. |
|
| 8 |
|
| Nze, omuto okusinga abato ab'omu batukuvu bonna, nnaweebwa ekisa kino, okubuuliranga ab’amawanga obugagga bwa Kristo obutanoonyezeka; |
|
| 9 |
|
| n'okumulisizanga bonna balabe okugaba kw'ekyama bwe kuli, ekyakwekebwa okuva edda n'edda lyonna mu Katonda eyatonda byonna; |
|
| 10 |
|
| kaakano abaamasaza n'ab'obuyinza mu bifo eby'omu ggulu bategeezebwe mu kkanisa amagezi amangi aga Katonda ag'engeri ennyingi, |
|
| 11 |
|
| ng'okumalirira bwe kuli mu Kristo Yesu Mukama waffe: |
|
| 12 |
|
| mwe tuggya obuvumu bwaffe n'okusembera n'obugumu olw'okumukkiriza ye. |
|
| 13 |
|
| Kyenva nsaba mmwe mulemenga okuddirira olw'ebibonoobono byange ku lwammwe, ebyo kye kitiibwa kyammwe. |
|
| 14 |
|
| Kyenva nfukaamirira Kitaffe, |
|
| 15 |
|
| buli kika eky'omu ggulu n'eky'oku nsi kwe kiggya erinnya, |
|
| 16 |
|
| abawe mmwe, ng'obugagga bw'ekitiibwa kye bwe buli, okunywezebwa n'amaanyi mu Mwoyo gwe mu muntu ow'omunda: |
|
| 17 |
|
| Kristo atuulenga mu mitima g'yammwe olw'okukkiriza; mubeerenga n'emmizi munywezebwenga mu kwagala, |
|
| 18 |
|
| mulyoke muweebwe amaanyi okukwatanga n'amagezi awamu n'abatukuvu bonna obugazi n'obuwanvu n'obugulumivu n'okugenda wansi bwe biri, |
|
| 19 |
|
| n’okutegeera okwagala kwa Kristo okusinga okutegeerwa, mulyoke mutuukirire okutuusa okutuukirira kwonna okwa Katonda. |
|
| 20 |
|
| Kale oyo ayinza okukola ennyo okusingira ddala byonna bye tusaba oba bye tulowooza, ng'amaanyi bwe gali agakolera mu ffe, |
|
| 21 |
|
| aweebwenga ekitiibwa mu kkanisa ne mu Kristo Yesu okutuusa emirembe n'emirembe egitaggwaawo. Amiina. |
|
|
|
|