|
| 1 |
|
| Olw'ensonga eyo, nze Pawulo omusibe wa Yesu Kristo ku lwammwe ab'amawanga amalala, mbasabira eri Katonda. |
|
| 2 |
|
| Ndowooza mwawulira nga Katonda yankwasa omulimu ogw'okubategeeza mmwe ebifa ku kisa kye, |
|
| 3 |
|
| era nga yandaga ekyama kye, nga bwe nawandiika mu bimpimpi. |
|
| 4 |
|
| Bwe munaasoma bye nawandiika, munaamanya nga bwe ntegeera ekyama kya Kristo. |
|
| 5 |
|
| Mu mirembe egy'edda, abantu tebaategeezebwa kyama kino, naye kaakano Katonda akibikkulidde abatume be abatukuvu n'abalanzi, ng'ayita mu Mwoyo Mutuukirivu. |
|
| 6 |
|
| Ekyama kye kino nti olw'Amawulire Amalungi, Abayudaaya n'ab'amawanga amalala balina ebisaanyizo bye bimu. Bonna bye bitundu eby'omubiri ogumu, era bagabanira wamu ebyo Katonda bye yasuubiza ng'ayita mu Kristo Yesu. |
|
| 7 |
|
| Katonda olw'ekisa kye, yampa ekirabo, amaanyi ge ne gakola mu nze, n'anfuula omuweereza w'Amawulire Amalungi. |
|
| 8 |
|
| Nze asembayo mu bantu ba Katonda bonna, Katonda yampa omukisa guno okutegeeza ab'amawanga amalala Amawulire Amalungi ag'obugagga bwa Kristo obutaggwaawo. |
|
| 9 |
|
| Era yampa omukisa okumanyisa abantu bonna ebifa ku kyama kino, Katonda eyatonda byonna kye yali akisizza okuva edda n'edda lyonna. |
|
| 10 |
|
| Kaakano ng'ayita mu kibiina ky'abakkiriza Kristo, ayagala amanyise abafuzi n'ab'obuyinza abali mu ggulu, amagezi ge agatakoma. |
|
| 11 |
|
| Ekyo yakiteekateeka okuva edda n'edda lyonna, n'akituukiririza mu Kristo Yesu Mukama waffe. |
|
| 12 |
|
| Olw'okwegatta awamu ne Kristo oyo, era n'olw'okumukkiriza, tuguma ne tusembera eri Katonda nga tetutya. |
|
| 13 |
|
| Kyenva mbeegayirira, muleme kuterebuka olw'okulaba nga mbonaabona ku lwammwe, kubanga okubonaabona kwange okwo, mmwe kubaweesa kitiibwa. |
|
| 14 |
|
| Kyenva nfukaamirira Katonda Kitaffe, |
|
| 15 |
|
| ebika byonna eby'omu ggulu n'eby'oku nsi mwe bisibuka, |
|
| 16 |
|
| ne mmusaba ye oweekitiibwa ekingi, abajjuze mmwe amaanyi aga Mwoyo we, |
|
| 17 |
|
| Kristo alyoke abeere mu mitima gyammwe, olw'okukkiriza kwe mulina. Mubeerere ddala mu kwagala, era mukunywereremu, |
|
| 18 |
|
| mmwe awamu n'abantu ba Katonda bonna, musobole okutegeerera ddala obugazi, n'obuwanvu, n'obugulumivu, n'okukka wansi eby'okwagala kwa Kristo. |
|
| 19 |
|
| Nsaba mumanye okwagala kwa Kristo okusukkiridde okutegeera kwonna, mulyoke mujjulire ddala Katonda. |
|
| 20 |
|
| Katonda oyo ayinza okukola ebisingira ddala ebyo bye tusaba oba bye tulowooza, olw'amaanyi ge agakolera mu ffe, |
|
| 21 |
|
| aweebwe ekitiibwa mu kibiina ky'abakkiriza Kristo, ne mu Kristo Yesu, kaakano ne mu mirembe egitaggwaawo. Amiina. |
|
|
|
|