|
| 1 |
|
| Olw'ensonga eno, nze Pawulo, omusibe wa Yesu Kristo ku lwammwe ab'amawanga, |
|
| 2 |
|
| nsuubira nga mwawulira obuwanika obw'ekisa kya Katonda kye nnaweebwa ku lwa mmwe, |
|
| 3 |
|
| n'engeri ekyama ekyo gye kyantegeezebwamu mu kubikkulirwa, nga bwe n'awandiika edda mu bigambo ebitono. |
|
| 4 |
|
| Bwe munaasoma bino munaamanya okutegeera kwange okw'ekyama kya Kristo. |
|
| 5 |
|
| Ekyo ekitaategeezebwa baana b'abantu, mu mirembe egy'edda nga kaakano bwe kibikkuliddwa abatume be abatukuvu ne bannabbi mu Mwoyo. |
|
| 6 |
|
| Eno y'engeri ab'amawanga gye babeera, abasikira awamu, era ab'omubiri ogumu, era abassa ekimu mu byasuubizibwa mu Kristo Yesu olw'Enjiri. |
|
| 7 |
|
| Olw'Enjiri eno, nnafuulibwa omuweereza waayo, ng'ekirabo eky'ekisa kya Katonda bwe kiri kye nnaweebwa ng'okukola kw'amaanyi ge bwe kuli. |
|
| 8 |
|
| Nze, omuto okusinga abato ab'omu batukuvu bonna, nnaweebwa ekisa kino, okubuuliranga ab'amawanga obugagga bwa Kristo obutanoonyezeka; |
|
| 9 |
|
| n'okumulisizanga bonna balabe entegeka ye kyama kino bwe kiri, ekyakwekebwa okuva edda n'edda lyonna mu Katonda eyatonda byonna. |
|
| 10 |
|
| Kaakano ng'ayita mu kkanisa, Katonda ayagala amanyise amagezi ge amangi, eri abaamasaza n'ab'obuyinza mu bifo eby'omu ggulu. |
|
| 11 |
|
| Ekyo yakitegeka okuva edda nedda, n'akituukiririza mu Kristo Yesu Mukama waffe. |
|
| 12 |
|
| Mu ye mwe tuggya obuvumu, n'obugumu okumusemberera olw'okumukkiriza. |
|
| 13 |
|
| Kyenva nsaba mmwe mulemenga okuddirira olw'ebibonoobono byange ku lwammwe, ebyo kye kitiibwa kyammwe. |
|
| 14 |
|
| Kyenva nfukaamirira Kitaffe, |
|
| 15 |
|
| buli kika eky'omu ggulu n'eky'oku nsi kwe kiggya erinnya, |
|
| 16 |
|
| abawe mmwe, ng'obugagga bw'ekitiibwa kye bwe buli, okunywezebwa n'amaanyi mu Mwoyo gwe mu muntu ow'omunda. |
|
| 17 |
|
| Kristo atuulenga mu mitima gyammwe olw'okukkiriza; mubeerenga n'emmizi, munywezebwenga mu kwagala, |
|
| 18 |
|
| mulyoke muweebwe amaanyi okukwatanga n'amagezi awamu n'abatukuvu bonna obugazi n'obuwanvu n'obugulumivu n'okugenda wansi bwe biri, |
|
| 19 |
|
| n'okutegeera okwagala kwa Kristo okusinga okutegeerwa, mulyoke mujjulire ddala n'okutuukirira kwonna okwa Katonda. |
|
| 20 |
|
| Kale oyo ayinza okukola ennyo okusingira ddala byonna bye tusaba oba bye tulowooza, ng'amaanyi bwe gali agakolera mu ffe, |
|
| 21 |
|
| aweebwenga ekitiibwa mu kkanisa ne mu Kristo Yesu okutuusa emirembe n'emirembe egitaggwaawo. Amiina. |
|
|
|
|