Mu biro ebyo Mukama n'aŋŋamba nti Weetemere ebipande bibiri eby'amayinja ebifaanana ng'eby'olubereberye, olinnye gye ndi ku lusozi, weekolere essanduuko ey'omuti.
Awo ne nkola essanduuko ey'omuti gwa sita, ne ntema ebipande bibiri eby'amayinja ebifaanana ng'eby'olubereberye, ne nninnya ku lusozi, nga nkutte ebipande ebibiri mu ngalo zange.
N'awandiika ku bipande, ng'okuwandiika okw'olubereberye bwe kwali, amateeka ekkumi, Mukama ge yababuulira ku lusozi ng'ayima wakati mu muliro ku lunaku olw'okukuŋŋaanirako Mukama n'abimpa.
(Abaana ba Isiraeri ne batambula okuva e Beerosubeneyaakani okutuuka e Mosera: Alooni n'afiira eyo, era eye gye yaziikibwa; Eriyazaali mutabani we n'aweerezanga mu bwakabona mu kifo kye.
Mu biro ebyo Mukama n'ayawula ekika kya Leevi, okusitulanga essanduuko ey'endagaano ya Mukama, okuyimirira mu maaso ga Mukama, okumuweerezanga, n'okwebazanga erinnya lye, ne leero.
Ne mmala ennaku amakumi ana emisana n’ekiro ku lusozi, ng'omulundi ogw'olubereberye: Mukama n'ampulira n'omulundi ogwo; Mukama nga tagenda kukuzikiriza.
Ne kaakano, Isiraeri, Mukama Katonda wo akwagaza ki wabula okutyanga Mukama Katonda wo, okutambuliranga mu makubo ge gonna, n'okumwagala, n’okuweereza Mukama Katonda wo n'omutima gwo gwonna, n'emmeeme yo yonna,
Kubanga Mukama Katonda wammwe ye Katonda wa bakatonda era Mukama w'abaami, Katonda omukulu, ow'amaanyi era ow'entiisa, atatya maaso ga bantu, so talya nguzi.