Luganda Bible 2003
|
| 1 |
| “Mu kiseera ekyo, Mukama n'aŋŋamba nti: ‘Bajja ebipande bibiri eby'amayinja, ebiri nga biri ebyasooka, era okole essanduuko ey'embaawo, oyambuke gye ndi ku lusozi. |
| 2 |
| Nja kuwandiika ku bipande ebyo ebigambo ebyali ku bipande biri eby'olubereberye bye wayasa, olwo obiteeke mu ssanduuko.’ |
| 3 |
| “Awo ne nkola essanduuko ey'omuti ogwa kasiya, ne mbajja n'ebipande bibiri eby'amayinja, ebiri nga biri ebyasooka, ne nnyambuka ku lusozi nga nkutte ebipande byombi mu ngalo zange. |
| 4 |
| Mukama n'awandiika ku bipande ebyo ebigambo ebiri nga biri ebyasooka: Ebiragiro Ekkumi, Mukama bye yabawa mmwe ng'asinziira mu muliro wakati, ku lunaku lwe mwakuŋŋaanirako. Mukama n'ampa ebipande ebyo. |
| 5 |
| Ne nkyuka, ne nserengeta okuva ku lusozi, ne nteeka ebipande mu ssanduuko gye nakola, era biri omwo nga Mukama bwe yandagira.” |
| 6 |
| (Abayisirayeli ne batambula okuva ku nzizi z'Abayaakani ne batuuka e Mosera. Arooni n'afiira eyo, era eyo gye yaziikibwa. Mutabani we Eleyazaari n'amusikira mu mulimu gw'obwakabona. |
| 7 |
| Ne bavaayo ne batambula okutuuka e Gudugoda. Ne bava e Gudugoda ne batuuka e Yotubata, ensi erimu emigga gy'amazzi. |
| 8 |
| Mu kiseera ekyo Mukama n'ayawula ab'Ekika kya Leevi okusitulanga Essanduuko ey'Endagaano ya Mukama, n'okuyimiriranga mu maaso ge okumuweereza, n'okuwanga abantu omukisa mu linnya lye. Egyo gye mirimu gyabwe n'okutuusa kati. |
| 9 |
| Abaleevi kyebaava batafuna mugabo gwa ttaka ery'ensikirano nga baganda baabwe. Ku bya Mukama kwe bagabana, nga Mukama Katonda wammwe, bo bwe yabagamba.) |
| 10 |
| “Ne mbeera ku lusozi okumala ennaku amakumi ana emisana n'ekiro, nga bwe nakola ku mulundi ogwasooka. Ne ku mulundi ogwo, Mukama n'awulira kye mmusaba, n'akkiriza obutabazikiriza mmwe. |
| 11 |
| Awo n'aŋŋamba nti: ‘Situka oyongere okutambula olugendo, okulembere abantu, bagende beefuge ensi gye nalayirira bajjajjaabwe okubawa.’ |
| 12 |
| “Kale kaakano Abayisirayeli, Mukama Katonda wammwe ky'abaagaza, kye kino: Mussengamu Mukama Katonda wammwe ekitiibwa. Mukwatenga empisa ennungi z'abalagira. Mumwagalenga era mumuweerezenga n'omutima gwammwe gwonna, n'omwoyo gwammwe gwonna, |
| 13 |
| era mukuumenga amateeka ge n'ebiragiro bye, bye mbawa olwaleero mulyoke mube bulungi. |
| 14 |
| Eggulu lyonna gye likoma okutumbiira, lya Mukama Katonda wammwe, era n'ensi yiye, n'ebigirimu byonna. |
| 15 |
| Naye Mukama yalumirwa nnyo bajjajjammwe, n'abaagala era n'okutuusa kati, kyeyava yeeroboza mmwe bazzukulu baabwe, mu b'amawanga amalala gonna. |
| 16 |
| Kale mubeerenga bawulize eri Mukama, mulekere awo okuba abakakanyavu, |
| 17 |
| kubanga Mukama Katonda wammwe mukulu okusinga balubaale bonna. Ye Mukama w'abafuzi, ow'amaanyi era ow'entiisa, atasaliriza, era atalya nguzi. Bag 2:6; Beef 6:9 |
| 18 |
| Asala mu bwenkanya ensonga za bamulekwa ne bannamwandu. Alumirwa abagwira abali mu mmwe, n'abawa ebyokulya n'ebyokwambala. |
| 19 |
| Kale mwagalenga abagwira abo, kubanga nammwe mwali bagwira mu nsi y'e Misiri. |
| 20 |
| Mussengamu ekitiibwa Mukama Katonda wammwe, era Ye gwe mubanga muweereza. Mumunywererengako, era mu linnya lye, mwe mubanga mulayirira. |
| 21 |
| Mumutenderezenga. Ye Katonda wammwe. Mwerabirako n'amaaso gammwe ebikulu era eby'entiisa bye yabakolera. |
| 22 |
| Bajjajjammwe baagenda e Misiri nga bali abantu nsanvu bokka, naye kaakano Mukama Katonda wammwe, mmwe abafudde bangi ng'emmunyeenye eziri ku ggulu. |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda2003/deuteronomy/010.mp3
34
10