×

EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI

Ekyamateeka Olwokubiri 10

1
“Mu biro ebyo Mukama n'aŋŋamba nti, ‘Bajja ebipande bibiri eby'amayinja ebifaanana ng'eby'olubereberye, olinnye gye ndi ku lusozi, era weekolere n'essanduuko ey'omuti.
2
Nange nnaawandiika ku bipande ebyo ebigambo ebyali ku bipande eby'olubereberye bye wamenya, era onoobiteeka mu ssanduuko.’ ”
3
“Awo ne nkola essanduuko ey'omuti gwa sita, ne mbajja ebipande bibiri eby'amayinja ebifaanana ng'eby'olubereberye, ne nninnya ku lusozi, nga nkutte ebipande ebibiri mu ngalo zange.
4
Mukama n'awandiika ku bipande amateeka ekkumi, ng'ebigambo bwe byali bye yababuulira olubereberye ku lusozi, ng'ayima wakati mu muliro, ku lunaku olw'okukuŋŋaanirako. Mukama n'ampa ebipande ebyo.
5
Ne nkyuka ne nva ku lusozi, ne nteeka ebipande mu ssanduuko gye nnali nkoze; era biri omwo nga Mukama bwe yandagira.”
6
( Abaana ba Isiraeri ne batambula okuva e Beerosubeneyaakani okutuuka e Mosera. Alooni n'afiira eyo, era gye yaziikibwa; Eriyazaali mutabani we n'amusikira mu kuweereza okw'obwakabona.
7
Ne bavaayo ne batambula okutuuka e Gudugoda; ne bava e Gudugoda ne batambula okutuuka e Yotubasa, ensi ey'ensulo ez'amazzi.
8
Mu biro ebyo Mukama n'ayawula ekika kya Leevi, okusitulanga essanduuko ey'endagaano ya Mukama, okuyimirira mu maaso ga Mukama okumuweerezanga, n'okuwa abantu omukisa mu linnya lye. Egyo gy'emirimu gyabwe n'okutuusa leero.
9
Ekika kya Leevi kye kiva kirema okuba n'omugabo newakubadde obusika awamu ne baganda babwe; Mukama bwe busika bwabwe, nga Mukama Katonda wammwe bwe yabagamba).
10
“Ne mmala ennaku ana (40) emisana n'ekiro ku lusozi, ng'omulundi ogwolubereberye; Mukama n'ampulira n'omulundi ogwo, n'atabazikiriza.
11
Mukama n'aŋŋamba nti, ‘Golokoka, okulembere abantu obayingize mu nsi gye nnalayirira bajjajjammwe okubawa.’ ”
12
“Kale kaakano, Isiraeri, Mukama Katonda wammwe byayagala mukole bye bino: Mutyenga Mukama Katonda wammwe, mutambulirenga mu biragiro bye byonna, mumwagalenga, era mumuweerezenga n'omutima gwammwe gwonna, n'obulamu bwammwe bwonna.
13
Mwekuumenga ebiragiro bya Mukama n'amateeka ge bye mbalagira leero, mulyoke mubeerenga bulungi.
14
Laba, Mukama Katonda wammwe ye nnannyini ggulu, n'ensi ne byonna ebirimu.
15
Mukama yayagala bwagazi bajjajjammwe, era nammwe bazzukulu baabwe kwe kubalonda okubaggya mu mawanga amalala gonna, era abaagala n'okutuusa kaakano.
16
Kale mugonderenga Mukama Katonda wammwe, so temubanga ba mputtu.
17
Kubanga Mukama Katonda wammwe ye Katonda omukulu asinga ba katonda abalala bonna; era Mukama w'abafuzi, ow'amaanyi, ow'entiisa, atasaliriza era atalya nguzi.
18
Asala mu bwenkanya omusango gwa bamulekwa ne bannamwandu, era alabirira bannamawanga ng'abawa eby'okulya n'eby'okwambala.
19
Kale nammwe mwagalenga bannamawanga; kubanga nammwe mwali bannamawanga mu nsi ey'e Misiri.
20
Mutyenga Mukama Katonda wammwe; oyo gwe munaaweerezanga; era oyo gwe munegattanga naye, n'erinnya lye lye munaalayiranga.
21
Oyo lye ttendo lyammwe, era ye Katonda wammwe, eyabakolera ebikulu era eby'entiisa, amaaso gammwe bye gaalaba.
22
Bajjajjammwe baagenda e Misiri nga bali abantu nsanvu (70); naye kaakano Mukama Katonda wammwe abaazizza; muli ng'emmunnyenye ez'oku ggulu obungi.”
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.
:
Save Notes