Gano ge mateeka n'emisango, bye munaakwatanga okukola mu nsi Mukama Katonda wa bajjajja bo gye yakuwa okugirya, ennaku zonna ze munaabeererangamu abalamu ku nsi.
Temulirema kuzikiriza bifo byonna amawanga ge mulirya mwe baaweererezanga bakatonda baabwe, ku nsozi empanvu, ne ku busozi, ne wansi wa buli muti omubisi:
era munaasuulanga ebyoto byabwe, era munaamenyaamenyanga empagi zaabwe, era munaayokyanga Abaasera baabwe n'omuliro; era munaatematemanga ebifaananyi ebyole ebya bakatonda baabwe; era mulizikiriza erinnya lyabwe mu kifo omwo.
Naye mu kifo Mukama Katonda wammwe ky'alyeroboza mu bika byammwe byonna okuteeka omwo erinnya lye, kye kifo mw'atuula, munaanoonyangayo, era onojjangayo;
Naye oyinza okutta ennyama n'okugirya munda w'enzigi zo zonna, ng'okwagala kwonna okw'emmeeme yo bwe kunaabanga, ng'omukisa gwa Mukama Katonda wo gwe yakuwa: abatali balongoofu n'abalongoofu bayinza okugiryako, nga bwe balya ku mpeewo ne ku njaza.
naye onoobiriiranga mu maaso ga Mukama Katonda wo mu kifo Mukama Katonda wo ky'alyeroboza, ggwe ne mutabani wo ne muwala wo n'omuddu wo n'omuzaana wo n'Omuleevi ali munda w'enzigi zo: era onoosanyukiranga ebyo byonna by'onossangako omukono gwo mu maaso ga Mukama Katonda wo.
Oba ng'ekifo Mukama Katonda wo ky'alyeroboza okuteeka omwo erinnya lye kiriyinga okukuba ewala, onottanga ku nte zo ne ku mbuzi zo, Mukama ze yakuwa, nga bwe nnakulagira, era onooliiranga munda w'enzigi zo, ng'okwagala kwonna okw'emmeeme yo bwe kunaabanga.