Munaatambulanga okugoberera Mukama Katonda wammwe ne mwekuumanga ebiragiro bye ne muwuliranga eddoboozi lye, era munaamuweerezaaga, ne mwegattanga naye.
Era nabbi oyo oba omuloosi w'ebirooto anattibwanga; kubanga ayogedde eby'okujeemera Mukama Katonda wammwe, eyabaggya mu nsi y'e Misiri, n'akununula mu nnyumba y'obuddu, okukusendasenda okukyama okuva mu kkubo Mukama Katonda wo lye yakulagira okutambulirangamu. Bw'otyo bw'onoggyangamu obubi wakati mu ggwe.
Waliwo abantu abataliiko kye bagasa abavudde wakati mu ggwe, era abasenzesenze abatuula mu kibuga kyabwe, nga boogera nti Tugende tuweereze bakatonda abalala be mutamanyanga;
Era onookuŋŋaanyanga omunyago gwakyo gwonna wakati mu luguudo lwakyo, n'oyokya ekibuga omuliro, n'omunyago gwonna buli kantu konna, eri Mukama Katonda wo: era kinaabanga kifunvu ennaku zonna; tekirizimbibwa nate.