Era eno ye ngeri y'okusumulula okwo: buli abanja anaasumululanga ekyo kye yawola muliraanwa we; takibanjanga muliraanwa we era muganda we; kubanga okusumulula kwa Mukama nga kulangiddwa.
Bwe wanaabanga gy'oli omwavu, omu ku baganda bo, munda w'oluggi lwonna ku nzigi zo mu nsi Mukama Katonda wo gy'akuwa, tokakanyazanga mutima gwo, so tofunyanga ngalo zo eri muganda wo omwavu:
Weekuumenga waleme okubaawo mu mutima gwo ekirowoozo ekikodo, ng'oyogera nti Omwaka ogw'omusanvu, omwaka ogusumululirwamu, gunaatera okutuuka; eriiso lyo ne liba bbi eri muganda wo omwavu, n'otomuwa kintu; n'akoowoola Mukama ng'akuwawaabira, ne kiba kibi gy'oli.
Kubanga abaavu tebaliggwaawo mu nsi ennaku zonna: kyenva nkulagira nga njogera nti Tolemanga kwanjuluza ngalo zo eri muganda wo, eri ababo abeetaaga, era eri abaavu bo, mu nsi yo.
n'olyoka oddiranga olukato, n'oluyisa mu kutu kwe n'okwasa n'oluggi, naye anaabeeranga muddu wo ennaku zonna. Era n'omuzaana wo bw'onoomukolanga bw'otyo.