So tewalabikanga gy'oli kizimbulukusa mu nsalo zo zonna ennaku musanvu; so tewasigalangawo ku nnyama, gy'onottanga ku lunaku olw'olubereberye akawungeezi, okusulawo okukeesa obudde.
naye mu kifo Mukama Katonda wo ky'alyeroboza okutuuza omwo erinnya lye, eyo gy'onottiranga Okuyitako akawungeezi, enjuba ng'egwa, mu biro bye waviiramu mu Misiri.
Era oneekuumanga embaga eya ssabbiiti eri Mukama Katonda wo ng'omuwa omusolo ogw'ekyo ky'owaayo ku bubwo eky'omukono gwo, ky'onowangayo nga Mukama Katonda wo bw'akuwa omukisa:
era onoosanyukiranga mu maaso ga Mukama Katonda wo, ggwe ne mutabani wo ne muwala wo n'omuddu wo n'Omuzaana wo n'Omuleevi ali munda w'enzigi zo ne munnaggwanga ne mulekwa ne namwandu, abali wakati wo, mu kifo Mukama Katonda wo ky'alyeroboza okutuuza omwo erinnya lye.
era onoosanyukiranga embaga yo, ggwe ne mutabani wo ne muwala wo, n'omuddu wo n'omuzaana wo, n'Omuleevi ne munnaggwanga ne mulekwa ne nnamwandu, abali munda w'enzigi zo.
Ennaku musanvu oneekuumanga embaga eri Mukama Katonda wo mu kifo Mukama ky'alyeroboza: kubanga Mukama Katonda wo anaakuwanga omukisa mu bibala byo byonna, ne mu mulimu gwonna ogw'engalo zo, era onoobanga n'essanyu jjereere. Emirundi esatu buli mwaka abasajja bo bonna banaalabikanga mu maaso ga Mukama Katonda wo mu kifo ky'alyeroboza: ku mbaga ey'emmere eteri nzimbulukuse, ne ku mbaga eya ssabbiiti, ne ku mbaga ey'ensiisira: so tebalabikanga mu maaso ga Mukama nga tebalina kintu:
Emirundi esatu buli mwaka abasajja bo bonna banaalabikanga mu maaso ga Mukama Katonda wo mu kifo ky'alyeroboza: ku mbaga ey'emmere eteri nzimbulukuse, ne ku mbaga eya ssabbiiti, ne ku mbaga ey'ensiisira: so tebalabikanga mu maaso ga Mukama nga tebalina kintu: