“Mukama Katonda wammwe bw'alimala okuzikiriza ab'amawanga amalala, kaakati abali mu nsi mmwe gy'abawa, ne mudda mu kifo kyabwe, ne mubeera mu bibuga byabwe, ne mu mayumba gaabwe,
Mulyerongooseza enguudo era ne musala mu nsi Mukama Katonda wammwe gy'abawa okuba eyammwe, n'ebaamu ebitundu bisatu, buli anaabanga asse omuntu nga tagenderedde asobolenga okuddukira mu kimu ku bibuga ebyo ebisatu.
Omussi anaddukiranga mu kimu ku bibuga ebyo n'awonya obulamu bwe, ye oyo anaabanga asse omuntu mu butali bugenderevu, era nga gw'asse tabadde mulabe we.
ne mukuumanga ebiragiro bino byonna bye mbawa olwaleero, nti mwagalenga Mukama Katonda wammwe era bulijjo mukolenga by'ayagala, olwo ku bibuga bino ebisatu, mulyongerako ebibuga ebirala bisatu.
bombi abatakkaanya banaagendanga mu kifo Mukama ky'aliba yeerobozezza okumusinzizangamu, ne balamulwa bakabona n'abalamuzi abanaabeerangawo mu kiseera ekyo.