Awo ne tulyoka tukyuka, ne tutambula mu ddungu mu kkubo eriyita mu Nnyanja Emmyufu, nga Mukama bwe yaŋŋamba: ne twetooloolera olusozi Seyiri ennaku nnyingi.
Naawe lagira abantu ng'oyogera nti Mugenda kuyita mu nsalo ya baganda bammwe abaana ba Esawu abatuula ku Seyiri, era bo balibatya: kale mwekuume nnyo mwekka:
Awo ne tuyita ku mabbali baganda baffe abaana ba Esawu abatuula ku Seyiri, mu kkubo lya Alaba okuva mu Erasi ne Ezyonigeba. Ne tukyuka ne tuyita mu kkubo ly'omu ddungu lya Mowaabu.
Mukama n'aŋŋamba nti Tosunguwaza Mowaabu so tolwana nabo mu lutalo: kubanga sijja kukuwa ku nsi ye okuba obutaka; kubanga nawa abaana ba Lutti Ali okuba obutaka.
Era n'Abakooli baatuulanga ku Seyiri olubereberye, naye abaana ba Esawu ne babasikira; ne babazikiriza mu maaso gaabwe, ne batuula mu kifo kyabwe; nga Isiraeri bwe yakola ensi ey'obutaka bwe Mukama gye yabawa.)
Era ennaku ze twamala kasookedde tuva e Kadesubanea okutuusa lwe twasomoka akagga Zeredi zaali emyaka amakumi asatu mu munaana; okutuusa emirembe gyonna egy'abalwanyi lwe baggweerawo wakati mu lusiisira, nga Mukama bwe yabalayirira.
era bw'onoosemberera abaana ba Amoni era ng'oboolekedde, tobasunguwaza so toyomba nabo: kubanga sijja kukuwa ku nsi y'abaana ba Amoni okuba obutaka: kubanga nagiwa abaana ba Lutti okuba obutaka.
ng'abaana ba Esawu abatuula ku Seyiri, n'Abamowaabu abatuula mu Ali bwe bankola; okutuusa lwe ndisomoka Yoludaani okugenda mu nsi Mukama Katonda waffe gy'atuwa.
Okuva ku Aloweri ekiri ku mabbali g'ekiwonvu kya Alunoni, era okuva ku kibuga ekiri mu kiwonvu okutuusa ku Gireyaadi, tewali kibuga ekyatulema olw'obugulumivu bwakyo: Mukama Katonda waffe yagabula byonna mu maaso gaffe: