Luganda Bible
|
| 1 |
| Omuntu bw'anaasangibwanga ng'attiddwa mu nsi Mukama Katonda wo gy'akuwa okugirya, ng'ali mu nsiko, so tekimanyibwa bw'ali amukubye: |
| 2 |
| abakadde bo n'abalamuzi bo ne balyoka bafulumanga, era banaageranga okutuuka ku bibuga ebimwetoolodde oyo eyattibwa: |
| 3 |
| awo olunaatuukanga ekibuga ekisinga okuba okumpi omuntu eyattibwa, abakadde b'ekibuga ekyo banaddiranga ente enduusi okugiggya mu nte, etekozebwanga mirimu, etewalulanga ng'eri mu kikoligo; |
| 4 |
| era abakadde b'ekibuga ekyo banaaserengesanga enduusi mu kiwonvu omuli amazzi agakulukuta, ekitali kirime so ekitali kisige, ne bakutula ensingo y'ente enduusi eyo mu kiwonvu: |
| 5 |
| awo bakabona abaana ba Leevi banaasemberanga; kubanga abo Mukama Katonda wo be yeeroboza okumuweerezanga, n'okusabanga omukisa mu linnya lya Mukama; era ng'ekigambo kyabwe bwe kinaabanga, bwe zityo buli mpaka na buli kulumbagana bwe binaamalibwanga: |
| 6 |
| awo abakadde bonna ab'ekibuga ekyo, abasinga okuba okumpi omuntu eyattibwa, banaanaabiranga engalo ku nte enduusi ekutuddwako ensingo mu kiwonvu: |
| 7 |
| era banaddangamu ne boogera nti Engalo zaffe si ze zaayiwa omusaayi guno, so n'amaaso gaffe tegaagulaba. |
| 8 |
| Sonyiwa, ai Mukama, abantu bo Isiraeri, be wanunula, so toganya musaayi ogutaliiko musango okuba wakati mu bantu bo Isiraeri. Kale omusaayi gunaabasonyiyibwanga. |
| 9 |
| Bw'otyo bw'onoggyangawo omusaayi ogutaliiko musango wakati wo, bw'onookolanga ekiri mu maaso ga Mukama ekirungi. |
| 10 |
| Bw'onootabaalanga okulwana n'abalabe bo, Mukama Katonda wo n'abagabula mu mikono gyo, n'obatwala nga mwandu, |
| 11 |
| n'olaba mu mwandu omukazi omulungi, n'omwegomba, n'oyagala okumuwasa; |
| 12 |
| n'olyoka omutwalanga ewuwo mu nnyumba yo; naye anaamwanga omutwe gwe n'asala enjala ze; |
| 13 |
| era anaayambulanga ebyambalo eby'obunyage bwe, n'abeera mu nnyumba yo n'amala omwezi omulamba ng'akaabira kitaawe ne nnyina: kale oluvanayuma n'olyoka oyingira gy'ali; n'oba bba naye nga mukazi wo. |
| 14 |
| Awo olunaatuukanga, bw'otoomusanyukirenga n'akatono, onoomulekanga okugenda gy'ayagala; naye tomutundangamu bintu n'akatono, tomukolanga ng'omuzaana, kubanga wamutoowaza. |
| 15 |
| Omusajja bw'abanga n'abakazi babiri, omu nga muganzi, omulala nga mukyawe, era nga bombi baamuzaalira abaana, omuganzi n'omukyawe; era omwana ow'obulenzi omubereberye bw'abanga ow'omukyawe; |
| 16 |
| awo olunaatuukanga, ku lunaku lw'alisisa abaana be ebyo by'alina, tafuulanga mwana wa muganzi okuba omubereberye, omwana w'omukyawe, ye mubereberye, ng'akyali mulamu: |
| 17 |
| naye anakkirizanga omubereberye, omwana w'omukyawe, ng'amuwa emigabo ebiri ku ebyo byonna by'alina: kubanga oyo kwe kusooka kw'amaanyi ge; eby'omubereberye bibye. |
| 18 |
| Omuntu bw'abanga ne mutabani we omukakanyavu omujeemu, atakkiriza kugondera ddoboozi lya kitaawe, newakubadde eddoboozi lya nnyina, era newakubadde nga bamubonereza, nga takkiriza kubawulira: |
| 19 |
| kale kitaawe ne nnyina banaamukwatanga, ne bamufulumya eri abakadde ab'omu kibuga kyabwe, n'eri wankaaki w'ekifo kyabwe: |
| 20 |
| ne bagamba abakadde ab'omu kibuga kyabwe nti Omwana waffe ono mukakanyavu mujeemu, takkiriza kugondera ddoboozi lyaffe; wa mpisa mbi, era mutamiivu. |
| 21 |
| Abasajja bonna ab'omu kibuga kyabwe ne bamukuba amayinja okumutta: bw'otyo bw'onoggyangawo obubi okuva wakati wo; kale Isiraeri yenna anaawuliranga anaatyanga. |
| 22 |
| Era omuntu bw'aba ng'akoze ekibi ekisaanira okumussa; ne bamutta, n'omuwanika ku muti; |
| 23 |
| omulambo gwe tegusulanga ku muti, naye tolemanga kumuziika ku lunaku olwo; kubanga awanikiddwa ng'akolimiddwa Katonda; olemenga okugwagwawaza ensi yo Mukama Katonda wo gy'akuwa okuba obusika. |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda/deuteronomy/021.mp3
34
21