1
“Abantu bwe banaabanga n'enkaayana ne bajja okubasalirawo, banaasalirwanga, omutuufu n'asinga omusango, omusobya ne gumusinga.
2
Awo omusobya bw'anaabanga azzizza omusango ogunaamukubya, omulamuzi anaalagiranga ne bamugalamiza mu maaso ge, ne bamukuba emiggo egisaanira omusango gwe yazza.
3
Ayinza okumusalira emiggo okutuuka ku makumi ana, kyokka taasussengawo. Okumukuba egisinga awo, kyandibadde kumuweebuula mu banne.
4
“Toosibenga nte mumwa ng'ewuula.
5
“Abasajja abooluganda bwe banaabanga babeera wamu, omu ku bo n'afa nga tazadde mwana wa bulenzi, nnamwandu we taafumbirwenga musajja mulala atali waaluganda lwa mufu. Muganda w'omufu anaatwalanga nnamwandu oyo amuwase, amukolere ekyo muganda w'omusajja ky'ateekwa okukolera mulamu we.
6
Omwana ow'obulenzi gw'anaasookanga okuzaala, ye anabbulanga erinnya lya muganda we eyafa, lireme kusaanawo mu Yisirayeli.
7
Naye omusajja oyo bw'anaabanga tayagala kuwasa nnamwandu wa muganda we, nnamwandu oyo anaagendanga ku mulyango gw'ekibuga awatuula abakulembeze, n'abagamba nti: ‘Muganda wa baze agaana okubbula erinnya lya muganda we mu Yisirayeli. Tayagala kunkolera ekyo muganda w'omusajja ky'ateekwa okukolera mulamu we.’
8
Abakulembeze b'ekibuga banaamuyitanga ne boogera naye. Bw'anaakakasanga n'agamba nti: ‘Ssaagala kumuwasa,’
9
nnamwandu wa muganda we anajjanga w'ali mu maaso g'abakulembeze, n'amunaanulamu engatto mu kigere ekimu, n'amufujjira amalusu mu maaso, n'amugamba nti: ‘Omusajja agaana okuzaalira muganda we omusika, bw'atyo bw'ayisibwa!’
10
Amaka ge mu Yisirayeli ganaayitibwanga, ‘Amaka g'eyanaanulwa engatto.’
11
“Abasajja bwe banaabanga balwanagana bokka na bokka, mukazi w'omu ku bo n'ajja okutaasa bba, n'agolola omukono n'akwata ebitundu eby'ekyama eby'omusajja alwana ne bba,
12
atemwangako omukono awatali kumulaga kusaasira.
13
“Temuukumpanyenga, ne mukozesa ebipimo ebikyamu okupima obuzito,
14
n'ebigero ebitali bituufu okugera obungi bw'ebintu.
15
Mukozesanga ebipimo ebituufu n'ebigero ebijjuvu, lwe muliwangaalira mu nsi Mukama Katonda wammwe gy'abawa,
16
kubanga Mukama Katonda wammwe akyawa buli akola ebibi ebiri ng'ebyo.
17
“Mujjukire Abameleki kye baabakola mmwe, bwe mwali mu lugendo nga muva mu Misiri.
18
Baabalumba mmwe mu kkubo, bwe mwali mukooye era nga muweddemu amaanyi, ne batatya Katonda, ne batta bonna abaali basembyeyo emabega, abaali bajja basenvula.
19
Kale Mukama Katonda wammwe bw'alimala okubatebenkeza mmwe, n'abaggyirawo abalabe bammwe bonna ababeetoolodde mu nsi gy'abawa okuba obutaka bwammwe, mulisaanyizaawo ddala Abameleki abo, baleme kujjukirwanga ku nsi. Temukyerabiranga ekyo.
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.