Mukama anaalagiranga omukisa okuba ku ggwe mu mawanika go, ne mu byonna by'oteekako omukono gwo; era anaakuweeranga omukisa mu nsi Mukama Katonda wo gy'akuwa.
Mukama anaakunywezanga okuba eggwanga ettukuvu eri ye, nga bwe yakulayirira; bw'onookwatanga ebiragiro bya Mukama Katonda wo n'otambuliraaga mu makubo ge.
Era Mukama anaakugaggawazanga olw'ebirungi, mu bibala by'omubiri gwo ne mu bibala by'ensolo zo ne mu bibala by'ettaka lyo; mu nsi Mukama gye yalayirira bajjajja bo okukuwa.
Era Mukama anaakufuulanga omutwe so si mukira; era onoobanga waggulu wokka so si wansi; bw'oti onowuliranga ebiragiro bya Mukama Katonda wo; bye nkukuutira leero, okubikwatanga n'okubikolanga;
Mukama anaakukubanga mu maaso g'abalabe bo: onoofulumanga okubatabaala mu kkubo limu, era onoddukanga mu makubo musanvu mu maaso gaabwe: era onooyuuganyizibwanga eruuyi n'eruuyi mu bwakabaka bwonna obw'ensi:
era onoowammantanga mu ttuntu, ng'omuzibe w'amaaso bw'awammantira mu kizikiza; so toolabenga mukisa mu makubo go: era onoojoogebwanga bujoogebwa era onoonyagibwanga ennaku zonna, so tewaabengawo anaakulokola.
Ente yo enettirwanga mu maaso go, so toogiryengako: endogoyi yo eneenyagibwanga lwa maanyi mu maaso go, so teekuddizibwenga: endiga zo zinaagabirwanga abalabe bo, so toobengako anaakulokolanga.
Batabani bo ne bawala bo banaagabirwanga eggwanga eddala, era amaaso go ganaatunulanga ganaazibanga olw'okubeegomba okuzibya obudde: so tewaabengawo kintu ekinaabanga mu buyinza bw'omukono gwo.
Era anaakuzingizanga mu miryango gyo gyonna, okutuusa enkomera zo empaavu eziriko ebigo ze weesiga lwe zirigwa mu nsi yo yonna: era alikuzingiza mu miryango gyo gyonna wmu nsi yo yonna, Mukama Katonda wo gy'akuwadde:
Era onoolyanga ebibala by'omubiri gwo ggwe, ennyama y'abaana bo ab'obulenzi n'ab'obuwala Mukama Katonda wo b'akuwadde; mu kuzingizibwa ne mu kuziyizibwa abalabe bo kwe banaakuziyizanga;
Omusajja omugonvu mu mmwe era omwenaanyi ennyo, eriiso lye linaabanga bbi eri muganda we n'eri omukazi ow'omu kifuba kye, n'eri abaana be abasigadde abakyaliwo:
n'obutawa n'atawa muntu yenna ku bo ku nnyama y'abaana be b'anaalyanga nga taliiko ekimusigalidde; mu kuzingizibwa ne mu kuziyizibwa omulabe wo kw'anaakuziyizanga mu miryango gyo gyonna.
n'eri omwana we omuto afuluma wakati w'ebigere bye, n'eri abaana be b'alizaala; kubanga anaabalyanga nkiso olw'okubulwa ebintu byonna: mu kuzingizibwa ne mu kuziyizibwa omulabe wo kw'anaakuziyizanga mu miryango gyo.
Era mu mawanga ago toliraba kwesiima kwonna, so n'ekigere kyo tekiibengako we kirinnya okuwummula: naye Mukama anaakuwanga omutima ogukankana, n'amaaso agaziba, n'emmeeme ekoozimba,
enkya onooyogeranga nti Singa buwungedde! era akawungeezi onooyogeranga nti Singa bukedde! olw'okutya kw'omutima gwo kw'onootyanga, n'olw'okulaba kw'amaaso go kw'onoolabanga.
Era Mukama alikuzza mu Misiri nate n'amaato, mu kkubo lye nnakugambako nti Toliriraba nate mulundi gwa kubiri: era eyo mulyetunda eri abalabe bammwe okuba abaddu n'abazaana, so tewaabengawo muntu anaabagulanga.