Mukama n'aŋŋamba nti Tomutya: kubanga mmugabudde ye n'abantu be bonna n'ensi ye mu mukono gwo; era olimukola nga bwe wakola Sikoni kabaka w'Abamoli abaatuulanga mu Kesuboni.
Era mu biro ebyo ne tuggya ensi mu mukono gwa bakabaka bombi ab'Abamoli abaali emitala wa Yoludaani, okuva mu kiwonvu kya Alunoni okutuusa ku lusozi Kerumooni;
N'Abalewubeeni n'Abagaadi ne mbawa okuva ku Gireyaadi okutuusa ku kiwonvu kya Alunoni, ekiwonvu ekya wakati, n'ensalo yaakyo; okutuusa ku mugga Yaboki, ye nsalo y'abaana ba Amoni;
era ne Alaba ne Yoludaani n'ensalo yaagwo; okuva ku Kinneresi okutuusa ku nnyanja ya Alaba, Ennyanja Eyomunnyo, awali entunnumba za Pisuga ku luuyi olw'ebuvanjuba.
Ne mbalagira mu biro ebyo nga njogera nti Mukama Katonda wammwe abawadde ensi eno okugirya: munaasomoka nga mukutte eby'okulwanyisa mu maaso ga baganda bammwe abaana ba Isiraeri, abasajja bonna abazira.
okutuusa Mukama lw'aliwa baganda bammwe okuwummula, nga nammwe, era nabo nga balidde ensi Mukama Katonda wammwe gy'abawa emitala wa Yoludaani: ne mulyoka mudda buli muntu mu butaka bwe bwe nnabawa.
Ai Mukama Katonda, otanudde okulaga omuddu wo obukulu bwo n'omukono gwo ogw'amaanyi; kubanga katonda ki ali mu ggulu oba mu nsi ayinza okukola ng'emirimu gyo bwe giri era ng'ebikolwa byo eby'amaanyi bwe biri?