“Ebyo bwe byaggwa, ne tukyuka ne tukwata ekkubo erigenda e Basani. Ogi kabaka w'e Basani ne yeesowolayo n'abantu be bonna okutwolekera mu lutalo mu Edereyi.
Mukama n'aŋŋamba nti: ‘Tomutya, kubanga nja kumuwaayo ye, n'abantu be bonna, n'ensi ye mu mikono gyo, omukoleko kye wakola ku Sihoni kabaka w'Abaamori, eyabeeranga mu Hesubooni.’
“Era mu kiseera ekyo, ne tuwamba ensi za bakabaka abo bombi ab'Abaamori abaabeeranga emitala wa Yorudaani, okuva ku Kiwonvu Arunoni okutuuka ku Lusozi Herumooni.
Abarewubeeni n'Abagaadi ne mbawa ekitundu okuva ku Gileyaadi okutuuka ku Kiwonvu Arunoni, ng'amakkati g'Ekiwonvu ye nsalo mu bukiikaddyo, ate Omugga Yabboki nga ye nsalo n'Abammoni mu bukiikakkono.
Ku ludda olw'ebugwanjuba, ekitundu kyabwe ne kituuka ku Mugga Yorudaani, okuva ku Nnyanja y'e Galilaaya mu bukiikakkono, okukkira ddala ku Nnyanja y'Omunnyo mu bukiikaddyo, n'okutuuka ku bigere by'Olusozi Pisuga ku ludda olw'ebuvanjuba.
‘Ayi Mukama Katonda nze omuweereza wo ondazeeko ntandikwa butandikwa ey'ebikulu era eby'amaanyi by'ogenda okukola. Teri Katonda mulala mu ggulu ne mu nsi ayinza okukola eby'amaanyi by'okoze.
Yambuka ku ntikko y'Olusozi Pisuga, oyimuse amaaso go otunule ebugwanjuba ne mu bukiikakkono, ebuvanjuba, ne mu bukiikaddyo, ensi eyo ogirengere bulengezi, kubanga togenda kusomoka mugga guno Yorudaani.