Mu budde obwo ebibuga bye byonna ne tubiwamba. Tewali kibuga kye tutaabawambako ku bibuga enkaaga, ensi yonna ey'e Arugobu, obwakabaka bwa Ogi mu Basani.
“Bwe tutyo mu budde obwo bakabaka ababiri ab'Abaamori, twabawambako ensi yaabwe emitala wa Yorudani, okuva ku Kiwonvu Arunoni okutuukira ddala ku lusozi Kerumoni.
Twawamba ebibuga byonna ebyali mu museetwe, n'ensi yonna eya Gileyaadi ne Basani okutuukira ddala ku Saleka ne Edureyi, ebibuga by'obwakabaka bwa Ogi mu Basani.
[Ogi kabaka w'e Basani yekka ye yali akyasigaddewo ku Barefa. Ekitanda kye eky'ekyuma kyalina emikono mwenda mu buwanvu ate ena mu bugazi. Kikyaliyo e Rabba mu Bammoni.]
“N'eyo ensi ne tugitwala. Ebitundu ebyo ne mbiwa ab'ekika kya Rubeni n'ekya Gaadi okuva ku Aroweri, ekiri ku lubalama lw'Ekiwonvu Arunoni, n'ekitundu ky'ensozi za Gileyaadi n'ebibuga byamu.
Yayiri muzzukulu wa Manasse yafuna ensi ya Arugobu yonna okutuuka ku nsalo n'Abagessuri n'Abamaakati, n'atuuma Basani erinnya lye Kavvoti-Yayiri, era bwe kikyayitibwa n'okutuusa ku lunaku lwa leero.
N'ab'ekika ekya Rubeni n'ekya Gaadi ne mbaawuliza ku nsi okuva e Gileyaadi okutuuka ku Kiwonvu Arunoni, n'okweyongerayo okutuuka ku Kiwonvu Yabboki ekikola ensalo n'Abammoni:
Ensalo zaabwe okudda ebuvanjuba nga gwe mugga Yorudani okuviira ddala ku Kinnereti n'okukkira ddala okutuuka ku nnyanja ya Araba, Ennyanja y'Omunnyo, ne wansi w'enkonko za Pisuga.
‘Ayi Mukama Omuyinza, otandise okwoleka omuweereza wo obukulu bwo n'omukono gwo ogw'amaanyi; kubanga lubaale ki mu ggulu ne mu nsi asobola okukola by'okola, n'okwegeranya ku by'amaanyi by'okola?
Yambuka ku ntikko ye Pisuga oyiseeyise amaaso go ebugwanjuba, emambuka, emaserengeta n'ebuvanjuba; ensi girengerere awo anti tojja kusomoka Yorudani ono.