Mukama Katonda wo y'alikukulembera okusomoka; ye alizikiriza amawanga gano mu maaso go, naawe oligalya: era Yoswa y'alikukulembera okusomoka, nga Mukama bwe yayogera.
Awo Musa n'ayita Yoswa n’amugamba mu maaso ga Isiraeri yenna nti Beera n'amaanyi, guma omwoyo: kubanga oligenda n'abantu bano mu nsi Mukama gye yalayirira bajjajja baabwe okubawa; era oligibasisa.
Awo Musa n'abalagira ng'ayogera nti Buli myaka musanvu bwe ginaggwangako, mu kiseera ekyateekebwawo eky'omwaka ogw'okusumululiramu, mu mbaga ey'ensiisira.
Isiraeri yenna nga bazze okulabikira mu maaso ga Mukama Katonda wo mu kifo ky'alyeroboza, onoosomeranga amateeka gano mu maaso ga Isiraeri yenna mu matu gaabwe.
Okuŋŋaanyanga abantu; abasajja n'abakazi n'abaana abato, ne munnaggwanga wo ali munda w'enzigi zo, bawulire, era bayige, era batye Mukama Katonda wammwe, era bakwatenga ebigambo byonna eby'amateeka gano okubikola;
Mukama n'agamba Musa nti Laba, ennaku zo ziri kumpi kikugwanire okufa: yita Yoswa, mweyanjule mu weema ey'okusisinkanirangamu, ndyoke mmulagire. Awo Musa ne Yoswa ne bagenda ne beeyanjula mu weema ey'okusisinkanirangamu.
Mukama n'agamba Musa nti Laba, olyebaka ne bajjajja bo; n'abantu bano baligolokoka ne bagenda nga bayenda okugoberera bakatonda abalala ab'omu nsi, gye bagenda okubeeranga mu bo wakati, era balindeka ne bamenya endagaano yange gye nnalagaana nabo.
Obusungu bwange ne bulyoka bubuubuuka ku bo ku lunaku luli, nange ndibaleka, era ndibakisa amaaso gange, era baliriibwa, n'obubi n'ennaku ennyingi biribajjira; n'okwogera ne boogera ku lunaku luli nti Obubi buno si kye buvudde butujjira kubanga Katonda waffe tali mu ffe?
Kale nno kaakano mwewandiikire oluyimba luno, era oluyigirize abaana ba Isiraeri: oluteeke mu bumwa bwabwe, oluyimba luno lubeerenga omujulirwa wange eri abaana ba Isiraeri.
Kubanga bwe ndiba nga mbayingizizza mu nsi gye nnalayirira bajjajja baabwe, ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki; era bwe baliba nga balidde ne bakkuta, ne bagejja; ne balyoka bakyukira bakatonda abalala, ne babaweereza, ne banyooma nze, ne bamenya endagaano yange.
Kubanga mmanyi nga mulyeyonoonera ddala nga mmaze okufa, era mulikyama okuva mu kkubo lye nnabalagira; era obubi bulibabaako mu nnaku ez'enkomerero; kubanga mulikola ekiri mu maaso ga Mukama ekibi, okumusunguwaza olw'omulimu gw'emikono gyammwe.