×

Luganda Bible 2003

Ekyamateeka Olwokubiri 34

1
Awo Musa n'ava mu nsenyi z'e Mowaabu, n'ayambuka ku Lusozi Nebo, entikko ya Pisuga, olwolekera Yeriko. Mukama n'amulaga ensi eyo yonna ey'e Gileyaadi, okutuuka e Daani,
2
n'ekitundu kyonna ekya Nafutaali, n'ensi ya Efurayimu ne Manasse, n'ensi yonna eya Yuda, okutuuka ebugwanjuba ku Nnyanja Eyaawakati,
3
n'ebukiikaddyo, n'olusenyi olw'ekiwonvu eky'e Yeriko ekibuga ky'ensansa, okutuuka e Zowari.
4
Mukama n'agamba Musa nti: “Eyo ye nsi gye nalayirira Aburahamu, Yisaaka, ne Yakobo nga ŋŋamba nti ndigiwa ezadde lyabwe. Ngikulengezezza bulengeza, naye tojja kusomoka kugendayo.”
5
Awo Musa omuweereza wa Mukama n'afiira eyo mu nsi y'e Mowaabu, nga Mukama bwe yagamba.
6
Mukama n'amuziika mu kiwonvu mu nsi y'e Mowaabu, okwolekera ekibuga Beti Pewori. Naye ne leero tewali amanyi kifo kyennyini we yaziikibwa.
7
Musa we yafiira, yali awezezza emyaka kikumi mu abiri. Kyokka yali akyalaba bulungi era ng'akyali wa maanyi.
8
Abayisirayeli ne bakaaba amaziga olwa Musa, okumala ennaku amakumi asatu nga bali mu nsenyi z'e Mowaabu, olwo ekiseera eky'okukungubagiramu nga bakungubagira Musa, ne kiryoka kiggwaako.
9
Yoswa mutabani wa Nuuni yali ajjudde amagezi, kubanga Musa yali amukakasizza okumusikira. Abayisirayeli ne bawuliranga Yoswa, ne bakolanga nga Mukama bwe yalagira Musa.
10
Okuva olwo tewasibukangawo mulanzi mu Yisirayeli ali nga Musa, Mukama gwe yamanya, n'ayogeranga naye nga balabagana maaso na maaso.
11
Tewali mulanzi mulala yakola byewuunyo na byamagero ng'ebyo Mukama bye yatuma Musa okukola ku kabaka w'e Misiri, ku bakungu be, ne ku nsi ye yonna.
12
Era tewali mulanzi mulala yakola bya maanyi ebyo byonna era eby'entiisa eyo yonna nga Musa bye yakola ng'Abayisirayeli bonna balaba.
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.
:
Save Notes