Kale mubyekuumenga mubikolenga; kubanga ago ge magezi gammwe n'okutegeera kwammwe mu maaso g'amawanga aganaawuliranga amateeka ago gonna ne googera nti Mazima eggwanga lino ekkulu be bantu ab'amagezi era abategeera.
olunaku lwe wayimirira mu maaso ga Mukama Katonda wo ku Kolebu, Mukama bwe yaŋŋamba nti Nkuŋŋaanyiza abantu, nange naabawuliza ebigambo byange, bayige okuntyanga ennaku zonna ze banaabanga abalamu ku nsi, era bayigirizenga abaana baabwe.
Mwekuume mulemenga okwerabira endagaano ya Mukama Katonda wammwe, gye yalagaana nammwe, ne mwekolera ekifaananyi ekyole nga kirina engeri y'ekintu kyonna, Mukama Katonda wo kye yakugaana.
Bw'onoozaalanga abaana n'abaana b'abaana, era nga mumaze ebiro bingi mu nsi, era nga mumaze okweyonoona, ne mwekolera ekifaananyi ekyole nga kirina engeri y'ekintu kyonna, ne mukola ekiri mu maaso ga Mukama Katonda wo ekibi, okumusunguwaza:
Bw'onooba ng'olabye ennaku; era ebyo byonna nga bikujjidde; mu nnaku ez'enkomerero onookomangawo eri Mukama Katonda wo, era onoowuliranga eddoboozi lye;
Kubanga kale buuza ennaku ez'edda ezaakusooka, okuva ku lunaku Katonda lwe yatonda abantu ku nsi, era okuva ku nkomerero y'eggulu okutuuka ku nkomerero yaalyo, oba nga waabangawo ekifaanana ng'ekigambo kino ekikulu; oba kyawulirwanga ekiri bwe kityo.
Yakuwuliza eddoboozi lye ng'ayima mu ggulu alyoke akuyigirize: ne ku nsi yakulabya omulimu gwe omunene; n'owulira ebigambo bye nga biva wakati mu muliro.
Era oneekuumanga amateeka ge n'ebiragiro bye, bye nkulagira leero, olabenga ebirungi ggwe n'abaana bo abaliddawo, era omale ennaku nnyingi ku nsi, Mukama Katonda wo gy'akuwa, emirembe gyonna.
Bezeri ekiri mu ddungu, mu lusenyi, okuba eky'Ababalewubeeni; ne Lamosi ekiri mu Gireyaadi okuba eky'Abagaadi; ne Golani ekiri mu Basani okuba eky'Abamanase.
emitala wa Yoludaani, mu kiwonvu ekyolekera Besupyoli, mu nsi ya Sikoni kabaka w'Abamoli, eyatuulanga mu Kesuboni, Musa n'abaana ba Isiraeri gwe baakuba, bwe baava mu Misiri: