(nnayimirira wakati wa Mukama nammwe mu biro ebyo, okubalaga ekigambo kya Mukama: kubaaga mwali mutidde olw'omuliro ne mutalinnya ku lusozi;) ng'ayogera nti
tobivuunamiranga, so tobiweerezanga: kubanga nze Mukama Katonda wo ndi Katonda wa buggya, awalana ku baaaa obubi bwa bajjajja baabwe, ne ku bannakabirye ne ku bannakasatwe ku abo abankyawa;
naye olunaku olw'omusanvu ye ssabbiiti ya Mukama Katonda wo: tolukolerangako mirimu gyonna ggwe newakubadde mutabani wo newakubadde muwala wo, newakubadde omuddu wo, newakubadde omuzaana wo; newakubadde ente yo, newakubadde endogoyi yo, newakubadde ebisolo byo byonna, newakubadde munnaggwanga wo ali ewuwo; omuddu wo n'omuzaana wo bawummulenga: era nga naawe.
Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa, nga Mukama Katonda wo bwe yakulagira: ennaku zo zibe nnyingi, era olabe ebirungi ku nsi Mukama Katonda wo gy'akuwa.
So teweegombanga mukazi wa muntu munno, so toyaayaaniranga nnyumba ya muntu munno, newakubadde ennimiro ye, newakubadde omuddu we, newakubadde omuzaana we, newakubadde ente ye newakubadde endogoyi ye, newakubadde ekintu kyonna ekya muntu munno.
Ebigambo ebyo Mukama yabibuulira ekibiina kyammwe kyonna ku lusozi ng'ayima wakati mu muliro ne mu kire ne mu kizikiza ekikutte, n'eddoboozi ddene: n'atayongerako birala. N'abiwandiika ku bipande bibiri eby'amayinja n'agampa:
ne mwogera nti Laba, Mukama Katonda waffe atulaze ekitiibwa kye n'obukulu bwe, era tuwulidde eddoboozi lye nga liva mu muliro: wakati: tulabye leero nga Katonda ayogera n'omuntu n'aba mulamu:
Kubanga ani ku balina omubiri bonna eyali awulidde eddoboozi lya Katonda omulamu nga lyogera nga liva mu muliro wakati, nga ffe bwe tuwulidde, n'aba mulamu?