Mu budde obwo nze nali omutabaganya wakati w'Omukama nammwe, nga mbabuulira ebigambo bye, kubanga mwali mutya omuliro ne mutayambuka ku lusozi. Yagamba nti:
Naye olunaku olwomusanvu ye Sabbaato ku lw'Omukama Katonda wo. Tokolanga mulimu ku olwo, ggwe, newandibadde mutabani wo, newandibadde muwala wo, newandibadde abaddu bo abasajja n'abakazi, oba ente yo, oba endogoyi yo na buli kisolo kyo, omugwira ali naawe mu kibuga kyo; omuddu wo n'omuzaana nabo bawummuleko nga ggwe bw'okola.
“ ‘Ossangamu kitaawo ne nnyoko ekitiibwa, ng'Omukama Katonda wo bwe yakulagira, olyoke owangaale era obeere wa mukisa ku nsi, Omukama Katonda wo gy'alikuwa.
“ ‘Teweegombanga mukazi wa munno; teweegombanga nnyumba ya munno, wadde ennimiro ye, oba omuddu we, oba omuzaana we, oba ente ye, oba endogoyi, na buli kikye.’
“Bino ebigambo Omukama bye yalangirira gye muli mu ddoboozi ekkalangufu nga mukuŋŋaanye ku lusozi, ng'ayima mu muliro wakati mu kire ne mu nzikiza ekutte; tewali kye yayongerako. Yabiwandiika ku mpande bbiri ez'amayinja, n'abimpa.