Kale manya leero nga Mukama Katonda wo ye wuuyo asomoka okukukulembera ng'omuliro ogwokya; ye alibazikiriza, era alibamegga mu maaso go: bw'otyo bw'olibagobamu, n'obazikiriza mangu, nga Mukama bwe yakugamba.
Toyogeranga mu mutima gwo, Mukama Katonda wo bw'alimala okubasindika mu maaso go, ng'ogamba nu Olw'obutuukirivu bwange Mukama kyavudde annyingiza okulya ensi eno: kubanga olw'obubi bw'amawanga ago Mukama kyava agagoba mu maaso go.
Si lwa butuukirivu bwo so si lwa bugolokofu bwa mutima gwo, kyova oyingira okulya ensi yaabwe: naye olw'obubi bw'amawanga ago Mukama Katonda wo kyava agagoba mu maaso go, era alyoke anyweze ekigambo Mukama kye yalayirira bajjajja bo, Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo.
Jjukira teweerabiranga bwe wasunguwaza Mukama Katonda wo mu ddungu: okuva ku lunaku lwe waviiramu mu nsi y'e Misiri okutuusa lwe mwajja mu kifo kino; mujeemera Mukama.
Mukama n’ampa ebipande bibiri eby'amayinja ebyawandiikibwako n'engalo ya Katonda; era ku byo kwawandiikibwa ng'ebigambo byonna bwe biri, Mukama bye yayogera nammwe ku lusozi ng'ayima wakati mu muliro ku lunaku olw'okukuŋŋaanirako.
Mukama n'aŋŋamba nti Golokoka ove wano oserengete mangu: kubanga abantu bo be waggya mu Misiri beeyoonoonye; bakyamye mangu okuva mu kkubo lye nnabalagira; beekoledde ekifaanaayi ekisaanuuse.
Ne nvuunamira mu maaso ga Mukama, ng'olubereberye, ennaku amakumi ana emisana n'ekiro; saalyanga mmere so saanywanga mazzi; olw'okwonoona kwammwe kwonna kwe mwayonoona, nga mukola ekyali mu maaso ga Mukama ekibi okumusunguwaza.
Ne nzirira ekibi kyammwe, ennyana gye mwali mukoze, ne ngyokya omuliro, ne ngisambirira, nga ngisekulasekula nnyo, okutuusa lwe yafaanana ng'enfuufu: ne nsuula enfuufu yaayo mu kagga akaserengeta okuva ku lusozi.
Awo Mukama bwe yabatuma okuva e Kadesubanea, ng'ayogera nti Mwambuke mulye ensi gye mbawadde; ne mulyoka mujeemera ekiragiro kya Mukama Katonda wammwe, so temwamukkiriza, so temwawulira ddoboozi lye.
Ne nsaba Mukama ne njogera nti Ai Mukama Katonda, tozikiriza bantu bo na busika bwo, be wanunula olw'obukulu bwo, be waggya mu Misiri n'engalo ez'amaanyi.
ensi gye watuggyamu ereme okwogera nti Kubanga Mukama teyayinza kubaleeta: mu nsi gye yabasuubiza; era kubanga yabakyawa, kyeyava abafulumya mu ddungu okubatta.