Kino kitegeere olwa leero nti Omukama Katonda wo akukulemberamu mu kusomoka, muliro ogugenda gusenkenya. Ajja kubamerengula, abafufuggaze mu maaso go, olyoke obagobe mangu obasaanyeewo, nga bwe yakugamba.
Omukama Katonda wo bw'amalanga okubakugoberawo, togambanga mu mutima gwo nti: ‘Omukama yandeeta ne ntwala ensi eno lwa kubeera butuukirivu bwange.’ Ekituufu kye kino, nti amawanga ago Omukama ajja kugakugoberawo kubanga mabi.
Ogenda kutwala ensi zaabwe si lwa butuukirivu na bwesimbu bwa mutima gwo, wabula kubanga amawanga ago mabi. Omukama Katonda wo ajja kugagobawo mu maaso go, atuukirize ekigambo kye kye yalayirira bajjajjaabo: Yiburayimu, Yizaake ne Yakobo.
“Jjukira, teweerabiranga lwe wasunguwaza Omukama Katonda wo mu ddungu; okuva ku lunaku luli lwe wava mu Misiri n'okutuukira ddala mu kifo kino, ojeemera Omukama.
Ne nziramu ne neeyala mu maaso g'Omukama ennaku amakumi ana n'ebiro amakumi ana, nga sirya mmere wadde okunywa amazzi, olw'okubeera ebibi byamwe byonna; mwayonoona mu maaso g'Omukama, ne mumunyiiza.
Nakwata ekibi kyammwe kye mwali mukoze, kwe kugamba nti akayana, ne nkookya mu muliro, ne nkaseseggula, ne nkasaamu olusennyente okutuusa nga kafuuse enfuufu ey'olufufugge, ne ngiyiwa mu mugga ogwali gukulukuta nga guva mu lusozi.