Ojja kuyingira mu nsi yaabwe ogitwale, si lwa kubanga oli mutuukirivu, oba omwesigwa; wabula lwa kibi ky’amawanga ago Mukama Katonda wo kyanaava agagoba mu maaso go, atuukirize n’ekisuubizo kye yalayirira bajjajjaabo: Ibulayimu ne Isaaka ne Yakobo.
Ojjukiranga, era tosaana kwerabiranga, nga bwe wasunguwaza Mukama Katonda wo ng’oli mu ddungu. Okuviira ddala ku lunaku lwe wava mu nsi ey’e Misiri mubadde mujeemera Mukama n’okutuusa lwe mutuuse mu kifo kino.
Bwe nalinnya ku lusozi okuweebwa ebipande eby’amayinja, nga bye byaliko endagaano Mukama Katonda gye yali alagaanye nammwe, ne mmala ku lusozi ennaku amakumi ana emisana n’ekiro, saalya ku mmere wadde okunywa ku mazzi.
Mukama Katonda n’ampa ebipande bibiri eby’amayinja nga biwandiikiddwako n’engalo ya Katonda. Ku byo kwali kuwandiikiddwako amateeka Mukama ge yali abalangiridde ng’ali ku lusozi wakati mu muliro ku lunaku olwo nga mwenna mukuŋŋaanye.
Awo Mukama Katonda n’aŋŋamba nti, “Situka ove mangu wano oserengete, kubanga abantu bo be waggya mu Misiri boonoonye. Beekyusizza mangu ne bava mu kkubo lye nabalagira okutambulirangamu, ne beekolera ekibumbe ekisaanuuse ekitali Katonda.”
Bwe ntyo ne nkyuka ne nva ku lusozi ne nserengeta, ne ndeka ng’olusozi lwaka omuliro. Ebipande byombi eby’amateeka eby’endagaano nabirina mu mikono gyange gyombi.
Bwe natunula ne ndaba nga mwonoonye mu maaso ga Mukama Katonda wammwe; mwali mwekoledde ekitali Katonda nga mukibumbye okufaanana ng’ennyana; mwali mukyuse mangu okuva mu kkubo Mukama lye yali abalagidde.
Ate ne nziramu okweyala wansi awali Mukama Katonda nga bwe nakola olubereberye ku Lusozi Sinaayi, Mukama bwe yali amaliridde okubazikiririza ddala yeefunire eggwanga eddala; ne sirya ku mmere wadde okunywa ku tuzzi okumala ennaku amakumi ana emisana n’ekiro, olw’ekibi kye mwali mukoze, bwe mwakola ebitasaana mu maaso ga Mukama Katonda ne mumusunguwaza.
Ne nzirira ennyana eyabaleetera okusobya, ne ngyokya mu muliro. Ne ngisekulasekula ne ngisa, n’efuuka olufufugge. Olufufugge olwo ne nduyiwa mu kagga akaali kakulukutira ku lusozi olunene.
Bwe ntyo ne nambaala ku ttaka nga neevuunise mu maaso ga Mukama, okumala ennaku amakumi ana emisana n’ekiro; kubanga Mukama Katonda yali agambye nti ajja kubazikiriza.
Ne nsaba Mukama nti, Ayi Mukama Katonda, bano be bantu bo, era obusika bwo bwennyini, be wanunula n’obaggya mu nsi ey’e Misiri n’omukono gwo ogw’amaanyi.