Luganda Bible
|
| 1 |
| Kale oba nga mwazuukirira wamu ne Kristo, munoonyenga ebiri waggulu, Kristo gy'ali ng'atudde ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda. |
| 2 |
| Mulowoozenga ebiri waggulu, so si ebiri ku nsi. |
| 3 |
| Kubanga mwafa, n'obulamu bwammwe bukwekeddwa wamu ne Kristo mu Katonda. |
| 4 |
| Kristo, obulamu bwaffe, bw'alirabisibwa, era nammwe ne mulyoka mulabisibwa wamu naye mu kitiibwa. |
| 5 |
| Kale mufiise ebitundu byammwe ebiri ku nsi; obwenzi, obugwagwa, okwegomba okw'ensonyi, omululu omubi, n'okuyaayaana, kwe kusinza ebifaananyi; |
| 6 |
| olw'ebyo obusungu bwa Katonda bujja ku baana abatawulira; |
| 7 |
| era nammwe mu ebyo mwe mwatambuliranga edda, bwe mwali abalamu mu byo. |
| 8 |
| Naye kaakano era nammwe muggyeewo byonna, obusungu, ekiruyi, ettima, okuvuma, okunyumya eby'ensonyi mu kamwa kammwe: |
| 9 |
| temulimbagananga mwekka na mwekka; kubanga mwamweyambulako omuntu ow'edda wamu n'ebikolwa bye, |
| 10 |
| ne mwambala omuntu omuggya, afuulibwa omuggya olw'okutegeera mu kifaananyi ky'oyo eyamutonda: |
| 11 |
| awo tewayinza kubeerawo Muyonaani n'Omuyudaaya, okukomolwa n'obutakomolwa, munnaggwanga, Omusukusi, omuddu, ow'eddembe: naye Kristo bye bintu byonna ne mu byonna. |
| 12 |
| Kale mwambalenga ng'abalonde ba Katonda, abatukuvu era abaagalwa, omwoyo ogw'ekisa, obulungi, okwewombeeka, obuteefu, okugumiikiriza; |
| 13 |
| nga muzibiikirizagananga, era nga musonyiwagananga mwekka na mwekka, omuntu yenna bw'abeeranga n'ensonga ku muntu munne; era nga Mukama waffe bwe yabasonyiwa mmwe, era nammwe bwe mutyo: |
| 14 |
| ku ebyo byonna era mwambale okwagalana, kye kintu ekinyweza okutuukirira. |
| 15 |
| Era emirembe gya Katonda giramulenga mu mitima gyammwe, era gye mwayitirwa mu mubiri ogumu; era mubeerenga n'okwebaza. |
| 16 |
| Ekigambo kya Kristo kibeerenga mu mmwe n'obugagga mu magezi gonna; nga muyigirizagananga era nga mulabulagananga mwekka na mwekka mu zabbuli n'ennyimba n'ebiyiiye eby'Omwoyo, nga muyimbira Katonda mu kisa mu mitima gyammwe. |
| 17 |
| Era buli kye munaakolanga, mu kigambo oba mu kikolwa, mukolerenga byonna mu linnya lya Mukama waffe Yesu, nga mwebaza Katonda Kitaffe ku bubwe. |
| 18 |
| Abakazi, muwulirenga babbammwe, nga bwe kiri ekirungi mu Mukama waffe. |
| 19 |
| Abasajja, mwagalenga bakazi bammwe, so temubakwatirwanga bukambwe. |
| 20 |
| Abaana abato, muwulirenga bakadde bammwe mu byonna, kubanga ekyo kye kisiimibwa mu Mukama waffe. |
| 21 |
| Bakitaabwe, temunyiizanga baana bammwe, balemenga okuddirira omwoyo. |
| 22 |
| Abaddu, muwulirenga bakama bammwe ab'omu mubiri mu byonna, si mu kuweereza okw'okungulu ng'abasiimibwa abantu, wabula mu mutima ogutalina bukuusa, nga mutya Mukama waffe: |
| 23 |
| buli kye munaakolanga mukolenga n'omwoyo, nga ku bwa Mukama waffe so si ku bwa bantu; |
| 24 |
| nga mumanyi nga mulisasulibwa Mukama waffe empeera ey'obusika: muli baddu ba Mukama waffe Kristo. |
| 25 |
| Kubanga ayonoona aliweebwa nate nga bwe yayonoona: so siwali kusosola mu bantu. |
|
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda/colossians/003.mp3
4
3