BIBULIYA ENTUKUVU
|
| 1 |
| Kale nno, oba mwazuukizibwa ne Kristu, munoonye ebiri waggulu eyo Kristu gy'ali ng'atudde ku gwa ddyo ogwa Katonda. |
| 2 |
| Mufe ku bya waggulu, naye si ku bya ku nsi. |
| 3 |
| Anti mwafa, n'obulamu bwammwe bukwekeddwa ne Kristu mu Katonda. |
| 4 |
| Kristu nno obulamu bwammwe bw'alirabika, olwo nammwe ne mulabika wamu naye mu kitiibwa. |
| 5 |
| Mutte buli kya nsi ekibalimu: obwenzi, obuseegu, amaddu, okwegomba okubi, n'okululunkanira ebintu, leero ekiba okusinza ebitaliimu. |
| 6 |
| Olwa bino obusungu bwa Katonda kyebunaava bujja. |
| 7 |
| Nammwe luli bino mwe mwatambuliranga bwe mwali mukyabirimu. |
| 8 |
| Kati ebyo byonna mubisse ebbali: obusungu, ennyiike, okuwaayiriza, okuvuma n'enjogera embi eziva mu kamwa kammwe. |
| 9 |
| Temulimbagananga, anti ng'obw'omuntu bwe mwalina edda n'empisa zaakwo mwabyeyambula |
| 10 |
| ne mwambala obw'omuntu obuggya, obugenda buzzibwa obuggya mu kumanya ne mu nfaanana y'Omutonzi waabwo. |
| 11 |
| Awo tewaba ono Mugereeki, ono Muyudaaya, ono mutayirire ono si mutayirire, ono mugwira, ono si mugunjufu, ono muddu, ono mwana wa ddembe; wabula Kristu ye byonna mu byonna. |
| 12 |
| Mmwe nno Katonda be yalonda, abatuukirivu ate abaganzi, mwambalenga omutima omusaasizi, ekisa, obwetoowaze, obuteefu, obugumiikiriza; |
| 13 |
| mulekeraganenga, era musonyiwaganenga nga wabaddewo alina ekigambo ku munne; ng'Omukama bwe yabasonyiwa, nammwe bwe muba mukola. |
| 14 |
| Kungulu kwa bino byonna mwambalirengako okwagala, kye kifundikwa ekisibira byonna awamu mu butuukirivu. |
| 15 |
| Eddembe lya Kristu libeere mu mitima gyammwe; anti ekyo kye mwayitirwa ng'omubiri ogumu; mwebazenga. |
| 16 |
| Ekigambo kya Kristu kibukale mu mmwe mu bugagga bwakyo bwonna. Buli omu ayigirize munne, abuulirire munne mu magezi gonna. Muyimbirenga Katonda mu mitima gyammwe zabbuli, amatendo n'ennyimba entukuvu nga mwebaza. |
| 17 |
| Buli kye mukola, kibeere mu bigambo oba mu bikolwa, mukikolenga mu linnya lya Mukama Yezu, nga mwebaza Katonda Taata nga muyita mu ye. |
| 18 |
| Abakazi, mugondere babbammwe nga bwe kigwanidde mu Mukama. |
| 19 |
| Abasajja, mwagale bakazi bammwe, temubakambuwaliranga. |
| 20 |
| Abaana, muwulirenga bazadde bammwe mu buli kintu, kubanga ekyo kisanyusa Omukama. |
| 21 |
| Abazadde, temunyiizanga baana bammwe, sikulwa nga baggwaamu omutima. |
| 22 |
| Abaddu, muwulirenga mu buli kintu bakama bammwe ab'oku nsi, si lwa kulabibwa, kyenkana ng'abanoonya okutendebwa abantu, naye mukozenga mutima gumu nga mutya Omukama. |
| 23 |
| Kyonna kye mukola, mukikozenga kwagala ng'abakolera Omukama, abatakolera bantu buntu, |
| 24 |
| nga mumanyi nti mulifuna obusika ng'empeera yammwe okuva ew'Omukama, anti Omukama Kristu gwe muweereza. |
| 25 |
| Akola obubi alisasulibwa olw'ensobi ze yakola, ate tewali kusosola. |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandabibu1/colossians/003.mp3
4
3