BIBULIYA ENTUKUVU
|
| 1 |
| Abakama, abaddu bammwe mubayisenga bulungi mu bwenkanya, anti mumanyi nga nammwe mu ggulu mulinayo Omukama. |
| 2 |
| Munyiikire okwegayirira; nga mwegayirira mutunule era mwebaze. |
| 3 |
| Naffe mutusabire Katonda atuggulirewo oluggi ku lw'ekigambo, tusobole okulangirira ekyama kya Kristu ekyansibisa mu njegere, |
| 4 |
| nkyolese nga njogera nga bwe nteeekeddwa okwogera. |
| 5 |
| Mweyise na magezi n'abo abagwira, nga muggya omugaso mu budde buno. |
| 6 |
| Enjogera yammwe ebeere ya ssimbo, ennungemu omunnyo, mulyoke mumanye engeri gye musaanye okwanukula buli omu. |
| 7 |
| Tukiko, owooluganda omwagalwa, omukozi omwesigwa, muweereza munnange mu Mukama, ajja kubategeeza byonna ebinfaako. |
| 8 |
| Mmubasindikidde olw'ensonga eno, mumanye ebitufaako, akubagize n'emitima gyammwe, |
| 9 |
| wamu ne Onesimo owooluganda omwagalwa era omwesigwa, omu ku mmwe. Bajja kubategeeza byonna ebifa eno. |
| 10 |
| Aristariko, musibe munnange, abatumidde; ne Mariko muganda wa Barunaba, gwe mwaweerwako ebiragiro - bw'atuukanga eyo, mumwanirizanga; |
| 11 |
| ne Yezu gwe baakazaako erya Yusito. Bano be bokka abava mu batayirire mu abo bwe tukola omulimu gw'obwakabaka bwa Katonda; babadde kikubagizo gye ndi. |
| 12 |
| Epafura, omu ku mmwe, omuweereza wa Kristu Yezu, abatumidde; ono bulijjo abalwanirira mu ssaala ze muleme kugwa, wabula mutuukirire bulungi era munywere ddala ku ekyo Katonda ky'ayagala. |
| 13 |
| Nnyinza okumujulira nti abalumirwa nnyo, n'ab'e Lawodikeya n'ab'e Yiyerapoli. |
| 14 |
| Luka omusawo omwagalwa ne Dema babatumidde. |
| 15 |
| Mundabire abooluganda abali e Lawodikeya, ne Nimfa n'Ekleziya eri mu maka ge. |
| 16 |
| Ebbaluwa eno bw'emalanga okusomebwa ewammwe, mugisome ne mu Ekleziya y'ab'e Lawodikeya, ate nammwe musome eva e Lawodikeya. |
| 17 |
| Mugambe Arikippo nti: “Wekkaanye, laba nti omulimu gwe wafuna mu Mukama ogutuukiriza.” |
| 18 |
| Okulamusa kuno nze nkuwandiise nzennyini Pawulo mu mukono gwange. Mujjukire enjegere zange. Eneema ebeere nammwe. |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandabibu1/colossians/004.mp3
4
4