EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
|
| 1 |
| Pawulo ne Sirwano ne Timoseewo eri ekkanisa ey'Abasessaloniika mu Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo, ekisa kibeerenga gye muli n'emirembe. |
| 2 |
| Twebaza Katonda ku lwammwe mwenna ennaku zonna, nga tuboogerako mu kusaba kwaffe; |
| 3 |
| nga tujjukira bulijjo mu maaso ga Katonda, omulimu gwammwe ogw'okukkiriza, n'okufuba okw'okwagala, n'okugumiikiriza okw'essuubi lyammwe mu Mukama waffe Yesu Kristo. |
| 4 |
| Kubanga tumanyi, ab'oluganda abaagalwa Katonda, nga yabalonda, |
| 5 |
| kubanga enjiri yaffe teyajja gye muli mu kigambo bugambo, wabula era ne mu maanyi, ne mu Mwoyo Omutukuvu, ne mu kutegeerera ddala okungi; nga bwe mumanyi bwe twali gye muli ku lwammwe. |
| 6 |
| Nammwe ne mutugoberera ffe ne Mukama waffe, kubanga mwafuna ekigambo mu kubonaabona okungi, n'essanyu eriva mu Mwoyo Omutukuvu. |
| 7 |
| Bwe mutyo ne muba ekyokulabirako eri abakkiriza bonna mu Makedoni ne mu Akaya. |
| 8 |
| Kubanga gye muli ye yava eddoboozi ly'ekigambo kya Mukama waffe, si mu Makedoni ne mu Akaya yokka, naye mu buli kifo okukkiriza kwammwe eri Katonda kwabuna; bwe tutyo ne tutabaako kigambo kye twetaaga okwogera. |
| 9 |
| Kubanga bo bokka bategeeza ebitukwatako, bwe mwatwaniriza bwe twajja; era ne bwe mwakyukira Katonda okuleka ebifaananyi, okuweerezanga Katonda omulamu ow'amazima, |
| 10 |
| n'okulindiriranga Omwana we okuva mu ggulu, gwe yazuukiza mu bafu, Yesu, atulokola mu busungu obugenda okujja. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandalbr/1thessalonians/001.mp3
5
1