Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
|
| 1 |
| Nze Pawulo ne Sirwano ne Timoseewo tuwandiikira Ekkanisa ey’Abasessaloniika, abantu ba Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo, |
| 2 |
| ekisa n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo, bibeerenga nammwe. |
| 3 |
| Kitugwanidde okwebazanga Katonda bulijjo ku lwammwe abooluganda, nga bwe kisaana, kubanga okukkiriza kwammwe kweyongedde nnyo okukula, awamu n’okwagalana kwammwe mwekka na mwekka, |
| 4 |
| ekyo ne kituleetera ffe ffennyini okubeenyumiririzaamu mu kkanisa za Katonda olw’okugumiikiriza kwammwe n’okukkiriza kwammwe wakati mu kuyigganyizibwa kwammwe kwonna awamu n’okubonaabona bye mugumiikiriza. |
| 5 |
| Ako kabonero akalaga nti Katonda mutuukirivu mu kulamula kwe, mmwe mulyoke musaanire obwakabaka bwa Katonda, bwe mubonaabonera, |
| 6 |
| ate ng’abo ababanyigiriza alibabonereza nga bwe kibagwanidde. |
| 7 |
| Era nammwe abanyigirizibwa muliweerwa wamu naffe ekiwummulo, mu kubikkulirwa kwa Mukama waffe Yesu bw’aliva mu ggulu, ne bamalayika be ab’amaanyi, |
| 8 |
| mu muliro ogwaka, n’abonereza abo abatamanyi Katonda era abajeemera Enjiri ya Mukama waffe Yesu. |
| 9 |
| Abo baliweebwa ekibonerezo kya kuzikirira emirembe n’emirembe, nga baawukanyiziddwa ne Mukama waffe, n’ekitiibwa ky’amaanyi ge. |
| 10 |
| Bw’alijja okugulumizibwa mu batukuvu be ku lunaku luli abo bonna abamukkiriza balyewuunya kubanga mwakkiriza bye twabategeeza ku ye. |
| 11 |
| Kyetuva tubasabira bulijjo, Katonda waffe abasaanyize okuyitibwa kwammwe. Abawe amaanyi mutuukirize ebirungi byonna bye mukola, na buli mulimu ogw’okukkiriza mu maanyi, |
| 12 |
| erinnya lya Mukama waffe Yesu liryoke ligulumizibwe mu mmwe, nammwe muweebwe ekitiibwa mu ye, ng’ekisa kya Katonda waffe ne Mukama waffe Yesu Kristo bwe kiri. |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandaeeee/2thessalonians/001.mp3
3
1