|
| 1 |
|
| Eky'enkomerero, abooluganda, mutusabire, ekigambo kya Mukama kiryoke kyeyongere okubuna amangu, era kiweebwe ekitiibwa, nga bwe kyali mu mmwe. |
|
| 2 |
|
| Era mutusabire, tuwone abantu aboonoonyi era ababi, kubanga okukkiriza si kwa bonna. |
|
| 3 |
|
| Kyokka Mukama waffe mwesigwa. Alibawa amaanyi mmwe, era alibawonya Omubi. |
|
| 4 |
|
| Tubeesiga, kubanga muli ba Mukama, ne tukakasa nti mukola era munaakolanga ebyo bye twabalagira. |
|
| 5 |
|
| Mukama aluŋŋamye emitima gyammwe mu kwagala kwa Katonda n'okugumiikiriza kwa Kristo. |
|
| 6 |
|
| Kale baganda bange, tubalagira mu linnya lya Mukama Yesu Kristo: mwewale abooluganda abagayaavu, era abatagoberera ebyo bye twabayigiriza mmwe. |
|
| 7 |
|
| Mmwe mwennyini mumanyi bulungi nti musaanidde okukola nga ffe bwe twakolanga. Bwe twali nammwe, tetwali bagayaavu. |
|
| 8 |
|
| Tetwalyanga mmere ya bwereere, wabula twakolanga nnyo, nga tufuba emisana n'ekiro, tuleme okukaluubirira wadde omu ku mmwe. |
|
| 9 |
|
| Tetugamba nti tekyanditugwanidde, wabula twayagala kubawa kyakulabirako, namwe mukolenga nga ffe. |
|
| 10 |
|
| Ne bwe twali nga tukyali wamu nammwe, twabalagira nti: “Agaananga okukola emirimu, n'okulya talyanga.” |
|
| 11 |
|
| Twawulira nti abamu mu mmwe bagayaavu, tebakola mirimu, wabula okweyingiza mu bya bannaabwe. |
|
| 12 |
|
| Ab'engeri eyo tubalagira era tubabuulirira mu linnya lya Mukama waffe Yesu, bakolenga emirimu nga bakkakkamu, bafune kye balya. |
|
| 13 |
|
| Abooluganda, temukoowanga kukola bulungi. |
|
| 14 |
|
| Bwe wabangawo agaana okugoberera kye tugamba mu bbaluwa eno, mumugenderere, era muleme kukolagana naye, alyoke akwatibwe ensonyi. |
|
| 15 |
|
| Kyokka temumuyisa ng'omulabe, wabula mumulabule nga muganda wammwe. |
|
| 16 |
|
| Kale Mukama waffe yennyini, nnannyini mirembe, abawenga emirembe bulijjo, buli we mubeera. Mukama abeerenga namwe mmwenna. |
|
| 17 |
|
| Nze Pawulo, okulamusa kuno nze nkuwandiise ne nteekako omukono. Ako ke kabonero akalaga buli bbaluwa gye mba mpandiise. Bwe ntyo bwe mpandiika. |
|
| 18 |
|
| Mukama waffe Yesu Kristo abakwatirwenga ekisa mmwe mwenna. |
|
|
|
|