|
| 1 |
|
| Ekisembayo, abooluganda, mutusabire, ekigambo ky'Omukama kitolontoke, kifune ekitiibwa nga bwe kyakola eyo, |
|
| 2 |
|
| naffe tuwonyezebwe abantu ababi abagwagwa; anti okukkiriza tekuli mu bonna. |
|
| 3 |
|
| Katonda ye mwesigwa; ajja kubanyweza abawonye akabi. |
|
| 4 |
|
| Tuli bakakafu ku mmwe mu Mukama nti mukola era mujja kukolanga bye twabalagira. |
|
| 5 |
|
| Omukama alambike emitima gyammwe mwagale Katonda, mulinde Kristu n'obugumiikiriza. |
|
| 6 |
|
| Abooluganda, mu linnya lya Mukama waffe Yezu Kristu, tubakuutira okweggya ku buli waaluganda adda mu kulendera, atagoberera mpisa ze mwatuyigirako. |
|
| 7 |
|
| Mumanyi mmwe mwennyini bwe muteekwa okulabira ku ffe; ffe bwe twali eyo ewammwe, tetwalenderanga bulendezi; |
|
| 8 |
|
| tewali we twalyanga mmere ku bwereere; wabula twakolanga ne tutegana ekiro n'emisana tuleme kubaako gwe tukaluubiriza. |
|
| 9 |
|
| Si kubanga twali tetusaanidde mpeera, naye twayagala kubawa kyakulabirako nammwe mukole nga ffe. |
|
| 10 |
|
| Ndaba ne bwe twali eyo ewammwe, ekyo kye twabakuutira, nti oba oli tayagala kukola, n'okulya aleme kulya. |
|
| 11 |
|
| Anti tuwulira mbu abamu mu mmwe balendera bulendezi, basobeza abalala, tebalina kye bakola. |
|
| 12 |
|
| Tulagira ab'engeri eyo mu Mukama Yezu Kristu era tubakubiriza bagende nga bakola mu kasirise, beefunire bo bennyini kye banaalya. |
|
| 13 |
|
| Abooluganda, temukoowanga kukola bulungi. |
|
| 14 |
|
| Oba waliwo atawulira kigambo kye tubawandiikidde mu bbaluwa eno, oyo mumulambe, mumwesambe, alyoke aswale. |
|
| 15 |
|
| Naye temumuyisa ng'omulabe, wabula mumukomeko ng'owooluganda. |
|
| 16 |
|
| Omukama oyo kiwamirembe, abawe emirembe ennaku zonna ne mu buli ngeri. Omukama abeere nammwe mwenna. |
|
| 17 |
|
| Okulamusa kuno nzennyini Pawulo nkuwandiise n'omukono gwange; ke kabonero ku buli bbaluwa yange; bwe ntyo bwe mpandiika. |
|
| 18 |
|
| Eneema ya Mukama waffe Yezu Kristu ebeere nammwe mwenna. |
|
|
|
|