×

EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI

2 Basessaloniika 3

1
Eky'enkomerero, ab'oluganda, mutusabirenga ekigambo kya Mukama waffe kibune mangu, era kiweebwenga ekitiibwa, era nga bwe kyali mu mmwe.
2
Era mutusabire, tulokolebwe okuva mu bantu abatalina magezi era ababi; kubanga okukkiriza si kwa bonna.
3
Naye Mukama waffe mwesigwa, alibanyweza, era anaabakuumanga eri omubi.
4
Era twesiga Mukama waffe mu bigambo byammwe, nga mukola bye twabalagira era munaabikolanga.
5
Era Mukama waffe aluŋŋamyenga emitima gyammwe okutuuka mu kwagala kwa Katonda ne mu kugumiikiriza kwa Kristo.
6
Era tubalagira, ab'oluganda, mu linnya lya Mukama waffe Yesu Kristo, mweyawulenga eri buli ow'oluganda atatambula bulungi, newakubadde mu mpisa ze baaweebwa ffe.
7
Kubanga mmwe mwennyini mumanyi bwe kibagwanira okutugobereranga, kubanga tetwali bagayaavu bwe twali nammwe,
8
so tetulyanga mmere ya muntu yenna ya bwereere, naye mu kufuba n'okukoowa twakolanga emirimu ekiro n'emisana obutazitoowerera muntu ku mmwe;
9
si kubanga tetulina buyinza, naye tweweeyo gye muli ng'eky'okulabirako mulyoke mutugobererenga.
10
Kubanga era bwe twali gye muli, twabalagira bwe tutyo nti Omuntu yenna bw'agaananga okukola emirimu, n'okulya talyanga.
11
Kubanga tuwulira nti eriyo abamu abatatambula bulungi mu mmwe nga tebakola mirimu gyabwe n'akatono, wabula egy'abalala.
12
Abali bwe batyo tubalagira era tubabuulirira mu Mukama waffe Yesu Kristo, okukolanga emirimu n'obuteefu balyoke balyenga emmere yaabwe bo.
13
Naye mmwe, ab'oluganda, temukoowanga mu kukola obulungi.
14
Era omuntu yenna bw'atagonderanga kigambo kyaffe mu bbaluwa eno, oyo mumwetegerezanga, so temwegattanga naye, ensonyi ziryoke zimukwate.
15
So temumulowoozanga nga mulabe, naye mumubuuliriranga ng'ow'oluganda.
16
Era Mukama waffe ow'emirembe yennyini abawenga emirembe ennaku zonna mu bigambo byonna. Mukama waffe abeerenga nammwe mwenna.
17
Kuno kwe kulamusa kwange Pawulo n'omukono gwange, ke kabonero mu bbaluwa yonna, bwe ntyo bwe mpandiika.
18
Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga nammwe mwenna.
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.
:
Save Notes