|
| 1 |
|
| Pawulo, omutume wa Kristo Yesu ng'okulagira kwa Katonda Omulokozi waffe bwe kuli n'okwa Kristo Yesu essuubi lyaffe; |
|
| 2 |
|
| eri Timoseewo omwana wange ddala olw'okukkiriza: ekisa, okusaasira, emirembe bibenga gy'oli ebiva eri Katonda Kitaffe ne Kristo Yesu Mukama waffe. |
|
| 3 |
|
| Nga bwe nnakubuulirira okubeera mu Efeso, bwe nnali nga ŋŋenda e Makedoni, olagirenga abamu obutayigirizanga bulala, |
|
| 4 |
|
| newakubadde okulowoozanga enfumo n'ebigambo by'obuzaale ebitakoma, ebireeta empaka okusinga obuwanika bwa Katonda obuli mu kukkiriza; bwe nkola bwe ntyo ne kaakano. |
|
| 5 |
|
| Naye enkomerero y'ekiragiro kwe kwagala okuva mu mutima omulongoofu n'omwoyo omulungi n'okukkiriza okutalina bukuusa: |
|
| 6 |
|
| ebyo abamu babiwunjukamu ne bakyamira mu bigambo ebitaliimu; |
|
| 7 |
|
| nga baagala okuba ng'abayigiriza b'amateeka, nga tebategeera bye boogera newakubadde bye bakakasa. |
|
| 8 |
|
| Naye tumanyi ng'amateeka malungi, omuntu bw'agasoma ng'amateeka bwe gali, |
|
| 9 |
|
| ng'amanyi ekyo nti amateeka tegateekerwawo muntu mutuukirivu, wabula abatali batuukirivu n'abajeemu, abatatya Katonda n'abalina ebibi, abatali batukuvu n'abavvoola Katonda, abatta bakitaabwe ne bannyaabwe, abassi b'abantu, |
|
| 10 |
|
| abenzi, abalya ebisiyaga, abanyazi b'abantu, abalimba, abalayirira obwereere, n'ebirala byonna ebiwakana n'okuyigiriza okw'obulamu; |
|
| 11 |
|
| ng'enjiri bw'eri ey'ekitiibwa kya Katonda eyeebazibwa gye nnateresebwa nze. |
|
| 12 |
|
| Mmwebaza oyo eyampa amaanyi, ye Kristo Yesu Mukama waffe, kubanga yandowooza nga ndi mwesigwa, bwe yanteeka mu buweereza, |
|
| 13 |
|
| olubereberye bwe nnali omuvumi era omuyigganya era ow'ekyejo: naye nnasaasirwa kubanga nnakolanga nga ssimanyi mu butakkiriza; |
|
| 14 |
|
| ekisa kya Mukama waffe ne kyeyongera nnyo wamu n'okukkiriza n'okwagala okuli mu Kristo Yesu. |
|
| 15 |
|
| Ekigambo kyesigwa, era ekisaanira okukkirizibwa kwonna nti Kristo Yesu yajja mu nsi okulokola abalina ebibi; mu bo nze w'olubereberye; |
|
| 16 |
|
| naye kyennava nsaasirwa Yesu Kristo alyoke alabisize mu nze ow'olubereberye okugumiikiriza kwe kwonna, okubeeranga ekyokulabirako eri abo abagenda okumukkiriza olw'obulamu obutaggwaawo. |
|
| 17 |
|
| Era Kabaka ow'emirembe n'emirembe, ataggwaawo, atalabika, Katonda omu, aweebwenga ettendo n'ekitiibwa emirembe n'emirembe. Amiina. |
|
| 18 |
|
| Ekiragiro kino nkuteresa, mwana wange Timoseewo, ng'ebigambo bya bannabbi bwe byali bye baakwogerako edda, olyoke olwanirenga mu byo olutalo olulungi, |
|
| 19 |
|
| ng'onyweza okukkiriza n'omwoyo omulungi, abalala gwe basindika eri ne bamenyekerwa okukkiriza kwabwe: |
|
| 20 |
|
| mu abo ye Kumenayo ne Alegezanda: be nnawa eri Setaani, balyoke bayigirizibwe obutavumanga. |
|
|
|
|