Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
|
| 1 |
| Nze Pawulo, omutume wa Kristo Yesu, nga Katonda Omulokozi waffe ne Kristo Yesu essuubi lyaffe, bwe baalagira, |
| 2 |
| nkuwandiikira ggwe Timoseewo, omwana wange ddala mu kukkiriza. Nkwagaliza ekisa n’okusaasira, n’emirembe, ebiva eri Katonda Kitaffe ne Yesu Kristo Mukama waffe. |
| 3 |
| Njagala osigale mu Efeso, nga bwe nakukuutira nga ŋŋenda e Makedoniya oziyize abantu baleme kuyigiriza njigiriza ndala. |
| 4 |
| Bagambe balekeraawo okwemalira ku nfumo, ne ku kulondoola enkalala empanvu ez’amannya g’abajjajja. Ebyo byongera mpaka, mu kifo ky’okuyigiriza abantu ebya Katonda ebiri mu kukkiriza. |
| 5 |
| Kye tugenderera mu kiragiro kino, kwe kwagala okuva mu mutima omulongoofu, n’omwoyo omulungi, n’okukkiriza okutaliimu bukuusa. |
| 6 |
| Ebyo abantu abamu babivaako ne badda mu mpaka ezitaliimu mugaso. |
| 7 |
| Beefuula bayigiriza b’amateeka ga Katonda, songa tebategeera bye boogera, wadde bye bakakasa. |
| 8 |
| Tumanyi ng’amateeka malungi, omuntu bw’agakozesa mu ngeri entuufu. |
| 9 |
| Tusaanye tutegeere nga Amateeka tegaateekerwawo batuukirivu, wabula gaateekerwawo bamenyi baago na bajeemu, aboonoonyi, n’abatatya Katonda, n’abatali batukuvu, n’abagwenyufu, abatta bakitaabwe ne bannyaabwe, era n’abatta abantu abalala, |
| 10 |
| n’abenzi, n’abalya ebisiyaga, abagula n’abatunda abaddu, abalimba n’abalayirira obwereere, ne bonna abatakkiriziganya na njigiriza ntuufu, |
| 11 |
| ng’Enjiri ey’ekitiibwa kya Katonda atenderezebwa, gye yankwasa bw’eri. |
| 12 |
| Neebaza Kristo Yesu Mukama waffe eyampa amaanyi ag’okumuweereza. Mwebaza kubanga yalaba nga nsaanira, n’ankwasa omulimu gwe. |
| 13 |
| Newaakubadde ng’edda namwogerangako bubi, ne mmuyigganya era ne mmuvuma, kyokka yansaasira, kubanga ebyo nabikolanga mu butamanya nga sinnaba kumukkiriza. |
| 14 |
| Naye Mukama waffe yankwatirwa ekisa kingi n’ampa okukkiriza kungi, era n’okwagala kwe tufunira mu Kristo Yesu. |
| 15 |
| Ekigambo kino kituufu, kisaanye okukkiriza, ekigamba nti Kristo Yesu yajja mu nsi okulokola aboonoonyi. Mu bo nze mwonoonyi asookera ddala. |
| 16 |
| Katonda kyeyava ansaasira, Kristo Yesu alyoke ayoleseze mu nze, omwonoonyi asingira ddala okugumiikiriza kwe okutakoma, era mbeere ekyokulabirako eri abo abalimukkiriza ne bafuna obulamu obutaggwaawo. |
| 17 |
| Kabaka ow’olubeerera, atafa era atalabika, Katonda omu yekka, agulumizibwenga, emirembe n’emirembe. Amiina. |
| 18 |
| Mwana wange Timoseewo, nkukubiriza ojjukire ebigambo bya bannabbi bye baakwogerako edda, olyoke olwane olutalo n’obuzira, |
| 19 |
| ng’okukkiriza, n’omwoyo omulungi, bye byokulwanyisa byo. Kubanga abalala abagaana okuba n’omwoyo ogwo omulungi bafiirwa okukkiriza kwabwe. |
| 20 |
| Mu abo mwe muli Kumenayo ne Alegezanda be n’awaayo eri Setaani bayige obutavumanga Katonda. |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandaeeee/1timothy/001.mp3
6
1