EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
|
| 1 |
| Kale okusooka byonna mbabuulirira okwegayiriranga n'okusabanga n'okutakabananga n'okwebazanga bikolebwenga ku lw'abantu bonna; |
| 2 |
| ku lwa bakabaka n'abakulu bonna; tulyoke tubeerenga n'obulamu obutereevu obw'emirembe mu kutya Katonda kwonna ne mu kwegendereza. |
| 3 |
| Ekyo kye kirungi, ekikkirizibwa mu maaso g'Omulokozi waffe Katonda, |
| 4 |
| ayagala abantu bonna okulokoka, era okutuuka mu kutegeerera ddala amazima. |
| 5 |
| Kubanga waliwo Katonda omu, era omutabaganya wa Katonda n'abantu omu, omuntu Kristo Yesu, |
| 6 |
| eyeewaayo abe omutango olwa bonna; obujulizi bwakyo obwalabisibwa mu ntuuko zaabwo. |
| 7 |
| Olwa kino, nze nnateekebwawo okuba omubuulizi era omutume (njogera mazima, ssirimba), Omuyigiriza w'amawanga olw'okukkiriza n'amazima. |
| 8 |
| Kyenva njagala abasajja basabenga mu buli kifo, nga bayimusa emikono emitukuvu, awatali busungu na mpaka. |
| 9 |
| Bwe batyo n'abakazi beeyonjenga mu byambalo ebisaana, n'okukwatibwa ensonyi n'okwegendereza; si mu kulanganga enviiri, ne zaabu oba luulu oba engoye ez'omuwendo omungi; |
| 10 |
| naye (nga bwe kisaanira abakazi abeeyita abatya Katonda) n'ebikolwa ebirungi. |
| 11 |
| Omukazi ayigenga mu bukkakkamu mu kugonda kwonna. |
| 12 |
| Naye omukazi mmugaanyi okuyigirizanga, newakubadde okufuganga omusajja, naye okubeeranga mu bukkakkamu. |
| 13 |
| Kubanga Adamu ye yasooka okutondebwa, oluvannyuma Kaawa; |
| 14 |
| era Adamu si ye yalimbibwa, naye omukazi oli ye yalimbibwa n'aba mu kwonoona, |
| 15 |
| naye anaalokokanga mu kuzaala, bwe banaanyiikiriranga mu kukkiriza n'okwagala n'obutukuvu awamu n'okwegendereza. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandalbr/1timothy/002.mp3
6
2