|
| 1 |
|
| Kituufu nti: “Buli muntu ayagala okuba omulabirizi, aba yeegombye omulimu mulungi.” |
|
| 2 |
|
| Omulabirizi ateekwa okuba nga taliiko ky'anenyezebwamu. Ateekwa okuba n'omukazi omu yekka. Ateekwa okuba nga yeefuga, mwegendereza, mukwata mpola, ayaniriza abagenyi, era ng'amanyi okuyigiriza. |
|
| 3 |
|
| Ateekwa okuba nga si mutamiivu, era nga si mukambwe, wabula abe nga muwombeefu, nga si muyombi, era nga talulunkanira byakufuna. |
|
| 4 |
|
| Ateekwa okuba ng'afuga bulungi amaka ge, n'abaana be nga bawulize, era nga ba mpisa. |
|
| 5 |
|
| Kale omuntu atasobola kufuga maka ge, asobola atya okulabirira ekibiina ky'abakkiririza Katonda mu Kristo? |
|
| 6 |
|
| Omulabirizi tateekwa kuba muntu eyaakakkiriza Kristo, sikulwa nga yeekulumbaza, n'asalirwa omusango, nga Sitaani bwe yagusalirwa. |
|
| 7 |
|
| Ateekwa okuba ng'assibwamu ekitiibwa abo abatali ba mu kibiina ky'abakkiriza Kristo, aleme kubaako ky'anenyezebwamu, era aleme kugwa mu mutego gwa Sitaani. |
|
| 8 |
|
| Abadyakoni nabo basaana okuba abantu abassibwamu ekitiibwa, aboogera amazima, abatanywa mwenge mungi, era abatalulunkanira bya kufuna. |
|
| 9 |
|
| Basaana okukuuma ekyama ky'okukkiriza mu mwoyo omulungi. |
|
| 10 |
|
| Era basookenga kugezebwa, balyoke baweereze nga tebalina kye banenyezebwamu. |
|
| 11 |
|
| N'abakazi bwe batyo, nabo basaana okuba abassibwamu ekitiibwa, abatawaayiriza, abeegendereza, era abeesigwa mu buli kimu. |
|
| 12 |
|
| Omudyakoni ateekwa okuba n'omukazi omu yekka, era ng'asobola okufuga obulungi abaana be, n'amaka ge, |
|
| 13 |
|
| kubanga ababa bakoze obulungi mu budyakoni, bafuna ekifo ekya waggulu, era baba n'obuvumu bungi mu kukkiriza kwabwe mu Kristo Yesu. |
|
| 14 |
|
| Nsuubira okujja amangu gy'oli. Kyokka bino mbikuwandiikira, |
|
| 15 |
|
| ne bwe ndirwa, omanye bw'osaana okukola mu nnyumba ya Katonda, kye kibiina ky'abakkiriza Katonda Nnannyinibulamu, empagi era omusingi gw'amazima. |
|
| 16 |
|
| Tewali kubuusabuusa, ekyama ky'eddiini yaffe kikulu ddala, ekigamba nti: “Yalabika nga muntu ddala, n'akakasibwa Mwoyo Mutuukirivu. Yalabibwa bamalayika, n'amanyisibwa mu mawanga. Yakkirizibwa ab'omu nsi, n'atwalibwa waggulu mu kitiibwa.” |
|
|
|
|