|
| 1 |
|
| Mwoyo agambira ddala kaati, nti mu biseera eby'oluvannyuma abamu balireka okukkiriza ne bawuliriza emyoyo gy'obulimba n'enjigiriza y'emyoyo emibi, |
|
| 2 |
|
| olw'obukuusa bw'abalimba, abo emmeeme zaabwe ezaasiriizibwa. |
|
| 3 |
|
| Bagaana obufumbo ne balagira okulekayo ebika by'emmere Katonda gye yatondera abo abakkiriza era abamanyi amazima bagirye nga beebaza. |
|
| 4 |
|
| Buli kyatondebwa Katonda kirungi; tewali kyandigaaniddwa bwe kiba nga kiriiriddwa n'okwebaza, |
|
| 5 |
|
| kubanga kitukuzibwa n'ekigambo kya Katonda n'essaala. |
|
| 6 |
|
| Bino bw'onoobigamba abooluganda, onooba muweereza mulungi owa Kristu Yezu, eyaliisibwa ebigambo by'okukkiriza n'eby'enjigiriza ennungi gye wagoberera. |
|
| 7 |
|
| Weewalire ddala enfumo omutali ddiini n'eŋŋambo ensirusiru. Weetendeke mu bulamu obusomi. |
|
| 8 |
|
| Kwo okutendeka omubiri kugasa, naye katono, naye byo eby'eddiini bigasa mu byonna, engeri gye birina kye bisuubiza mu bulamu buno ne mu bulamu obulijja. |
|
| 9 |
|
| Ekyogerwa kino kya mazima era kisaanye okukwatibwa kyonna. |
|
| 10 |
|
| Kino kye tukolerera era kye tulafuubanira, kubanga essuubi lyaffe twalissa mu Katonda omulamu, Omulokozi w'abantu bonna, naddala ow'abo abakkiriza. |
|
| 11 |
|
| Bino by'oba olagira n'okuyigiriza. |
|
| 12 |
|
| Tokkirizanga n'omu kukunyooma olw'obuvubuka, wabula abakkiriza bawe ekyokulabirako mu kwogera, mu mpisa, mu kwagala, mu kukkiriza ne mu butukuvu. |
|
| 13 |
|
| Okutuusa nga nzize, nyiikirira okusoma Ebiwandiiko ebitukuvu, okubuulirira n'okuyigiriza. |
|
| 14 |
|
| Togayaaliriranga kirabo ky'olina ekyakuweebwa mu kigambo ky'abalanzi ku olwo olukiiko lw'abakadde lwe lwakussaako emikono. |
|
| 15 |
|
| Kino ky'oba weefubirira, kino ky'oba weemalirako, bonna balabe bw'ogenda weeyongera. |
|
| 16 |
|
| Weefeeko era fa ne ku ky'oyigiriza, okinywerereko; bw'onookola bw'otyo ojja kwewonya, owonye n'abo abakuwuliriza. |
|
|
|
|