|
| 1 |
|
| Abali mu kikoligo ky'obuddu balowoozenga bakama baabwe bennyini nga basaanidde ekitiibwa kyonna, erinnya lya Katonda n'okuyigiriza kwaffe biremenga okuvumibwa. |
|
| 2 |
|
| Abo abalina bakama baabwe abakkiriza tebabanyoomanga, kubanga ba luganda; naye beeyongere okubaweerezanga, kubanga abagasibwa mu kuweereza kwabwe, bakkiriza era baagalwa. Yigirizanga ebyo obibuulirirenga. |
|
| 3 |
|
| Omuntu yenna bw'ayigirizanga obulala, era nga takkiriza bigambo bya bulamu, ebya Mukama waffe Yesu Kristo, n'okuyigiriza okugoberera okutya Katonda; |
|
| 4 |
|
| nga yeekulumbaza, nga taliiko ky'ategeera, wabula okukalambiza obukalambizi empaka n'entalo ez'ebigambo, omuva obuggya, okuyomba, okuvuma, n'okuwayiriza, |
|
| 5 |
|
| awamu n'okukaayana kw'abantu abayonooneka amagezi, abaggibwako amazima, nga balowooza ng'okutya Katonda kwe kufuna amagoba. |
|
| 6 |
|
| Naye okutya Katonda wamu n'obutayaayaananga ge magoba amangi, |
|
| 7 |
|
| kubanga tetwaleeta kintu mu nsi, era tetuyinza kuggyamu kintu. |
|
| 8 |
|
| Naye bwe tuba n'emmere n'eby'okwambala, ebyo binaatumalanga. |
|
| 9 |
|
| Naye abaagala okugaggawala bagwa mu kukemebwa ne mu mutego n'okwegomba okungi okw'obusirusiru okwonoona, okunnyika abantu mu kubula n'okuzikirira. |
|
| 10 |
|
| Kubanga okwagala ebintu kye kikolo ky'ebibi byonna; waliwo abantu abayaayaanira ebyo, ne bakyamizibwa okuva mu kukkiriza, ne beefumitira ddala n'ennaku ennyingi. |
|
| 11 |
|
| Naye ggwe, omuntu wa Katonda, ddukanga ebyo, ogobererenga obutuukirivu, okutya Katonda, okukkiriza, okwagala, okugumiikiriza, n'obuwombeefu. |
|
| 12 |
|
| Lwananga okulwana okulungi okw'okukkiriza, nywezanga obulamu obutaggwaawo, bwe wayitirwa, n'oyatula okwatula okulungi mu maaso g'abajulirwa abangi. |
|
| 13 |
|
| Nkukuutirira mu maaso ga Katonda, awa byonna obulamu, ne Kristo Yesu eyategeeza okwatula okulungi eri Pontio Piraato; |
|
| 14 |
|
| weekuumenga ekiragiro awatali bbala, awatali kya kunenyezebwa, okutuusa ku kulabika kwa Mukama waffe Yesu Kristo. |
|
| 15 |
|
| Kuno kuliragibwa mu ntuuko zaakwo Nannyini buyinza yekka atenderezebwa, Kabaka wa bakabaka, era Mukama w'abaami; |
|
| 16 |
|
| alina obutafa yekka, atuula mu kutangaala okutasemberekeka; omuntu yenna gw'atalabangako, so siwali ayinza okumulaba, aweebwenga ekitiibwa n'obuyinza obutaggwaawo. Amiina. |
|
| 17 |
|
| Okuutirenga abagagga ab'omu mirembe gya kaakano obuteegulumizanga, newakubadde okwesiga obugagga obutali bwa lubeerera, wabula Katonda, atuwa byonna olw'obugagga tulyoke twesanyusenga n'ebyo; |
|
| 18 |
|
| bakolenga obulungi, babeerenga abagagga mu bikolwa ebirungi, babeerenga bagabi, bassenga kimu. |
|
| 19 |
|
| Olwo banaabanga beeterekera eky'okunsinzirako ekirungi olw'ebiro ebigenda okujja, balyoke banywezenga obulamu ddala ddala. |
|
| 20 |
|
| Ayi Timoseewo, kuumanga kye wateresebwa, nga weewala ebigambo ebitaliimu ebitali bya Katonda n'okuwakana kw'ebigambo bye beerimba nti magezi. |
|
| 21 |
|
| Waliwo abantu abeegamba okuba nakwo, ne bakyama mu kukkiriza. Ekisa kibeerenga nammwe. |
|
|
|
|