|
| 1 |
|
| Kale mwana wange, nywera ng'oyambibwa amaanyi Kristo Yesu g'atuwa. |
|
| 2 |
|
| Ebyo bye wawulira nga njogera mu maaso g'abajulirwa abangi, biyigirizenga abantu abeesigwa, abalisobola okubiyigiriza abalala. |
|
| 3 |
|
| Naawe bonaabona ng'omuserikale omulungi owa Kristo Yesu. |
|
| 4 |
|
| Tewali muserikale ali ku lutalo eyeeyingiza mu mitawaana egy'abantu abaabulijjo, kubanga ekiba kimuli ku mutima, kwe kusanyusa oyo eyamuwandiika okuba omuserikale. |
|
| 5 |
|
| Oyo eyeetaba mu mizannyo gy'empaka, taweebwa ngule ya buwanguzi bw'atagoberera biragiro. |
|
| 6 |
|
| Omulimi eyategana asaanira okusooka okufuna ku bibala. |
|
| 7 |
|
| Lowooza ku kye ŋŋamba, Mukama ajja kukuwa okutegeera byonna. |
|
| 8 |
|
| Jjukira nti Yesu Kristo, omuzzukulu wa Dawudi yazuukira, ng'Amawulire Amalungi ge ntegeeza abantu bwe gagamba. |
|
| 9 |
|
| Olw'Amawulire ago Amalungi kyenva mbonaabona, ne nsibibwa ng'omukozi w'ebibi. Naye ekigambo kya Katonda tekisibiddwa. |
|
| 10 |
|
| Kyenva ŋŋumira byonna olw'abalondemu ba Katonda, balyoke bafune okulokolebwa, n'ekitiibwa ekitaggwaawo, ebiri mu Yesu Kristo. |
|
| 11 |
|
| Ekigambo kino kya mazima ekigamba nti: “Oba nga twafiira wamu naye, era tulibeera balamu wamu naye. |
|
| 12 |
|
| Bwe tugumiikiriza awamu naye, era tulifugira wamu naye. Bwe tumwegaana, era naye alitwegaana. |
|
| 13 |
|
| Bwe tutaba beesigwa, ye aba mwesigwa, kubanga tayinza kwewakanya.” |
|
| 14 |
|
| Ebyo obijjukizenga abantu bo ng'obakuutirira mu maaso ga Katonda, beewalenga okuwakana okutaliimu mugaso, okwonoona abo abawuliriza. |
|
| 15 |
|
| Fubanga okusiimibwa Katonda, ng'oli mukozi akola ebitakuswaza, era yigirizanga bulungi ekigambo eky'amazima. |
|
| 16 |
|
| Weewalenga ebigambo ebitassaamu Katonda kitiibwa, era ebitaliimu nsa, kubanga abantu bibongera bwongezi kunyooma Katonda. |
|
| 17 |
|
| Era ebigambo byabwe birirya nga kookolo. Mu abo mwe muli Yimenaayo ne Fileeto, |
|
| 18 |
|
| abaakyama ne bava ku mazima, nga bagamba nti okuzuukira kwabaawo dda. Era waliwo abamu be boonoonedde okukkiriza kwabwe. |
|
| 19 |
|
| Kyokka omusingi Katonda gwe yateekawo mugumu, era guliko akabonero, bye bigambo ebigamba nti: “Mukama amanyi ababe.” Era nti: “Buli ayatula erinnya lya Mukama, ave mu bibi.” |
|
| 20 |
|
| Mu nnyumba ennene temubaamu bintu bya zaabu na bya ffeeza byokka, naye mubaamu n'eby'emiti, era n'eby'ebbumba. Ebimu bikozesebwa emirimu egyekitiibwa, n'ebirala egitali gyakitiibwa. |
|
| 21 |
|
| Buli eyeewala ebibi ebyo byonna, ye anaabanga ekintu ekyekitiibwa, ekitukuziddwa, ekisaanira buli mulimu omulungi. |
|
| 22 |
|
| N'olwekyo weewalenga okwegomba okubi okw'ekivubuka, ogobererenga obutuukirivu, okukkiriza, okwagalana era n'emirembe, ng'oli wamu n'abo abeegayirira Mukama. |
|
| 23 |
|
| Weewalenga empaka ez'obusirusiru, ezitaliimu magezi, kubanga omanyi nti zivaamu nnyombo. |
|
| 24 |
|
| Omuweereza wa Mukama tasaana kuyomba, wabula okuba ow'ekisa eri buli muntu, n'okuba omuyigiriza omulungi, agumiikiriza, |
|
| 25 |
|
| era ng'aluŋŋamya n'obwetoowaze abo abamuwakanya, osanga Katonda abawa okwenenya, ne bamanya amazima, |
|
| 26 |
|
| ne bava mu mutego gwa Sitaani gw'abakwasisizza, abakozese by'ayagala. |
|
|
|
|