|
| 1 |
|
| Noolwekyo mwana wange nywereranga mu kisa ekiri mu Kristo Yesu. |
|
| 2 |
|
| Ebyo bye wawulira nga njogera mu maaso g’abajulirwa abangi biyigirizenga abantu abeesigwa, abalisobola okubiyigiriza abalala. |
|
| 3 |
|
| Naawe bonaabonanga ng’omuserikale omulungi owa Kristo Yesu. |
|
| 4 |
|
| Tewali muserikale ng’ali ku lutalo eyeeyingiza mu mitawaana gy’abantu abaabulijjo, alyoke asiimibwe oyo eyamuwandiika. |
|
| 5 |
|
| Omuntu yenna eyeetaba mu mizannyo gy’empaka, taweebwa buwanguzi bw’atagoberera biragiro bya mizannyo egyo. |
|
| 6 |
|
| Omulimi ategana ennyo y’asaanira okufuna ku bibala ebibereberye. |
|
| 7 |
|
| Kale lowooza ku bye ŋŋamba; Mukama ajja kukuwa okutegeera byonna. |
|
| 8 |
|
| Jjukira nga Yesu Kristo ow’omu zzadde lya Dawudi yazuukira mu bafu ng’Enjiri gye ntegeeza bw’egamba. |
|
| 9 |
|
| Olw’Enjiri eyo, kyenva mbonaabona n’ensibibwa ng’omukozi w’ebibi. Naye ekigambo kya Katonda kyo tekisibiddwa. |
|
| 10 |
|
| Kyenva ngumira ebintu byonna olw’abalonde nabo balyoke balokolebwe era bafune, n’ekitiibwa ekitaggwaawo ekiri mu Kristo Yesu. |
|
| 11 |
|
| Ekigambo kino kyesigwa ekigamba nti: “Obanga twafiira wamu naye, era tulibeera balamu wamu naye. |
|
| 12 |
|
| Obanga tugumiikiriza awamu naye, era tulifugira wamu naye. Obanga tumwegaana era naye alitwegaana. |
|
| 13 |
|
| Ffe bwe tutaba beesigwa, ye aba mwesigwa, kubanga teyeewakanya.” |
|
| 14 |
|
| Ebyo bijjukizenga abantu ng’obakuutirira mu maaso ga Katonda, beewalenga okuwakana okutalina mugaso, nga bakyamya abo abawuliriza. |
|
| 15 |
|
| Fubanga okweraga ng’osiimibwa Katonda, ng’oli mukozi akola ebitakuswaza, era nga weekuumira mu kkubo ery’obubaka obw’amazima. |
|
| 16 |
|
| Weewalenga ebigambo ebinyooma era ebitaliimu nsa, kubanga abantu bibongera bwongezi mu butatya Katonda. |
|
| 17 |
|
| Era ebigambo byabwe birisaasaana nga kookolo; mu abo mwe muli Kumenayo ne Fireeto, |
|
| 18 |
|
| abaakyama ne bava ku mazima, nga bagamba nti okuzuukira kwabaawo dda, era waliwo abamu be bakyamizza. |
|
| 19 |
|
| Kyokka omusingi Katonda gwe yateekawo mugumu, era gulina akabonero kano: “Mukama amanyi ababe.” Era nti: “Buli ayatula erinnya lya Mukama ave mu butali butuukirivu.” |
|
| 20 |
|
| Mu nnyumba ennene temubaamu bintu bya zaabu na ffeeza byokka, naye mubaamu n’eby’emiti, era n’eby’ebbumba. Ebimu bikozesebwa emirimu egy’ekitiibwa, n’ebirala egitali gya kitiibwa. |
|
| 21 |
|
| Noolwekyo buli eyeewala ebintu ebyo ebitali bya kitiibwa anaabanga ow’ekitiibwa, atukuziddwa, asaanira okukozesebwa mukama we, olw’omulimu omulungi. |
|
| 22 |
|
| Naye ddukanga okwegomba okubi okw’ekivubuka, ogobererenga obutuukirivu, n’okukkiriza, n’okwagalana era n’emirembe awamu n’abo abasaba Mukama n’omutima omulongoofu. |
|
| 23 |
|
| Weewalenga empaka ez’obusirusiru, ezitaliimu magezi, kubanga omanyi nti zivaamu okulwana. |
|
| 24 |
|
| Omuddu wa Mukama tasaana kulwana, wabula okuba omukkakkamu eri bonna, n’okuba omuyigiriza omulungi agumiikiriza, |
|
| 25 |
|
| era aluŋŋamya n’obwetoowaze abo abamuwakanya, oboolyawo Katonda alibawa okwenenya, ne bamanya amazima, |
|
| 26 |
|
| ne bava mu mutego gwa Setaani gwe baguddemu abakozese by’ayagala, ne badda engulu mu kutegeera kwabwe. |
|
|
|
|