|
| 1 |
|
| Kale ggwe, mwana wange, beeranga wa maanyi mu kisa ekiri mu Kristo Yesu. |
|
| 2 |
|
| Era bye wawuliranga gye ndi mu bajulirwa abangi, ebyo biteresenga abantu abeesigwa, era abalisaanira okuyigiriza n'abalala. |
|
| 3 |
|
| Bonaaboneranga wamu nange ng'omulwanyi omulungi owa Kristo Yesu. |
|
| 4 |
|
| Tewali mulwanyi bw'atabaala eyeeyingiza mu mitawaana egy'obulamu buno, alyoke asiimibwe oyo eyamuwandiika okuba omulwanyi. |
|
| 5 |
|
| Naye era omuntu bweyetaba mu mbiro ez'empaka, taweebwa ngule bw'atawakana nga bwe kiragirwa. |
|
| 6 |
|
| Omulimi akola emirimu n'amaanyi yasaana okusooka okutwala ku bibala. |
|
| 7 |
|
| Lowooza kye njogedde; kubanga Mukama waffe anaakuwanga okutegeera mu bigambo byonna. |
|
| 8 |
|
| Jjukira Yesu Kristo, nga yazuukira mu bafu, ow'omu zzadde lya Dawudi, ng'enjiri yange bw'eyogera; |
|
| 9 |
|
| Enjiri eyo gye mbonaaboneramu okutuusa ku kusibibwa, ng'akola obubi; naye ekigambo kya Katonda tekisibibwa. |
|
| 10 |
|
| Kyenva ngumiikiriza byonna olw'abalonde, era nabo balyoke bafune okulokoka okuli mu Kristo Yesu, wamu n'ekitiibwa ekitaggwaawo. |
|
| 11 |
|
| Ekigambo kino kyesigwa nti, “Oba nga twafa naye, era tulibeera balamu wamu naye. |
|
| 12 |
|
| Bwe tugumiikiriza, era tulifugira wamu naye; bwe tumwegaana, era naye alitwegaana. |
|
| 13 |
|
| Bwe tutabeera beesigwa, ye abeera mwesigwa, kubanga tayinza kwegaana kyali.” |
|
| 14 |
|
| Ebyo obibajjukizanga, ng'obakuutirira mu maaso ga Mukama waffe, obutalwananga na bigambo ebitagasa, ebikyamya abawulira. |
|
| 15 |
|
| Fubanga okweraga ng'osiimibwa Katonda, omukozi atakwatibwa nsonyi, ayisa wakati ekigambo eky'amazima. |
|
| 16 |
|
| Naye ebigambo ebitaliimu ebitali bya ddiini obyewalanga, kubanga bireetera abantu kweyongera bweyongezi mu butatya Katonda. |
|
| 17 |
|
| Ekigambo kyabwe kirirya nga kookolo; ku abo ye Kumenayo ne Fireeto; |
|
| 18 |
|
| kubanga baakyama mu mazima, nga boogera ng'okuzuukira kwamala okubeerawo, era waliwo abantu be baavuunikirira okukkiriza kwabwe. |
|
| 19 |
|
| Naye omusingi gwa Katonda omugumu gubeerawo, nga gulina akabonero kano nti, “Mukama waffe amanyi ababe,” era nti, “Buli ayatula erinnya lya Mukama, yeewalenga obutali butuukirivu.” |
|
| 20 |
|
| Naye mu nnyumba ennene temubaamu bintu bya zaabu na bya ffeeza byokka, naye era mubaamu n'eby'emiti n'eby'ebbumba; n'ebirala eby'ekitiibwa, n'ebirala ebitali bya kitiibwa. |
|
| 21 |
|
| Kale omuntu bwe yeerongoosaako ebyo, anaabeeranga ekintu eky'ekitiibwa, ekyatukuzibwa, ekisaanira omwami okuweerezanga, ekyalongooserezebwa buli mulimu omulungi. |
|
| 22 |
|
| Naye okwegomba okw'omu buvubuka okwewalanga, naye ogobereranga obutuukirivu, okukkiriza, okwagala, emirembe, awamu n'abo abasaba Mukama waffe mu mwoyo omulongoofu. |
|
| 23 |
|
| Naye empaka ez'obusirusiru era ez'obutayigirizibwa ozirekanga, ng'omanyi nga zizaala okulwana. |
|
| 24 |
|
| Naye omuddu wa Mukama waffe tekimugwanira kulwananga, wabula okubeeranga omukkakkamu eri bonna, omuyigiriza, omugumiikiriza, |
|
| 25 |
|
| abuulirira n'obuwombeefu abawakanyi, mpozzi oba nga Katonda alibawa okwenenya olw'okutegeerera ddala amazima, |
|
| 26 |
|
| era balyoke badduke okuva mu mutego gwa Setaani, oyo eyabanyaga okukolanga by'ayagala. |
|
|
|
|